Amasasi ganyoose nga minisita Mayanja addiza abantu ettaka ku lubiri lwa Kyabazinga

AMASASI ganyoose ku lusozi Igenge,minisita omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja bw’abadde addiza abantu abasoba mu mu 250 ettaka erigambibwa nti baalibagobako.

Minisita Sam Mayanja ng’ayogera eri abantu abagobaganyizibwa ku ttaka e Kainogoga mu kibuga Jinja.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AMASASI ganyoose ku lusozi Igenge,minisita omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja bw’abadde addiza abantu abasoba mu mu 250 ettaka erigambibwa nti baalibagobako.
Kiddiridde abatuuze ku kyalo Kainogoga ne Buwekula mu Jinja Northern Divison mu kibuga Jinja abaakulembeddwaamu Eva Nabasirye okwekubira enduulu eri Minisita wamu n’akakiiko ka Anti-corruption Unit okubayamba ku baserikale n’abakungu mu Bwakyabazinga bwa Busoga ababaliisa akakanja ku ttaka lyabwe.
Minisita yasoose kusisinkana bakungu mu Bwakyabazinga okwabadde minisita w’ebyettaka, Fredrick Kyangwa ne minisita owa guno na guli, Edward Munaaba n’abategeeza nga bwe yabadde agenze okukola ku kwemulugunya kw’abantu n’okuzza emirembe ku ttaka wamu n’Obwakyabazinga bwa Busoga.
Minisita Mayanja, bano yabategeezezza nga Obwakyabazinga bwe bukaayanira ettaka eritali lyabwo yiika 120 nga liriko abantu abasoba mu 300 ng’ettaka lino lya Jinja City ne Land Commission ng’Obwakyabazinga tebulina buyinza kugobako bantu.
Munaaba yategeezezza Mayanja ng’ettaka eryogerwako bwe liri ery’Obwakyabazinga era yasambazze ebigambibwa nti Obwakyabazinga bugobako abantu.
“Ffe nga Obwakyabazinga twatandika kaweefube w’okutereeza abantu abasangibwa ku ttaka lya Isebantu era ekyapa kyaffe kibulako ebintu bitono naye twayita abantu bonna abali ku ttaka beewandiise tubawe liizi era tubamanye,” Munaaba bwe yategeezezza.
Oluvannyuma Minisita Mayanja yakubye olukiiko omwabadde abatuuze, abeebyokwerinda wamu n’ab’Obwakyabazinga ku kyalo Kainogoga, abatuuze ne battottola ebizibu bye bafunidde ku ttaka lino. Mohamed Bogere, ssentebe w’ekyalo kino okuva mu 1993 yategeezezzang’enkaayana ku ttaka lino bwe zaatandika mu 2009 abantu bwe baatandika okulyesenzaako nga lyali ttale kyokka bakyewuunya bwe balaba abaserikale nga bagumbye ku kyalo bamenya amayumba g’abantu n’okubakwata. “Natuukirira abaserikale bano abaali mu byambalo bya UPDF nga balina n’emmundu, bwe nababuuza ne bang’amba nti bakolera ku biragiro bya Kyabazinga nga bakulemberwa Maj. Ronald Mugoya. Abantu bang angi batulugunyiziddwa n’okusibwa era twakizuula nga Katuukiro, Joseph Muvawala y’ali emabega wa bino,” Bogere bwe yagambye. Joan Namusoke, omusomesa era omutuuze ku kyalo kino agamba nti mu March 10, 2018, abasibe baatwalibwa ku ttaka lyabwe ne batandika okulirima wabula bwe yagenda okwebuuza ku baserikale abaali babaleese, abaserikale ba Kyabazinga baamukwata ne bamutwala ku poliisi y’e Bugembe ng’eno baakubira Katuukiro Muvawala okubalambika ku musango gwe babeera bamuggulako n’abalagira okumutwala ku Jinja CPS. “Nga June 4, 2018, omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo yatuyita ku poliisi e Jinja ne batutwala mu kkooti, tebaatusomera misango ne batusindika ku alimanda e Kirinya okumala ennaku ttaano gye twagugulanira n’emisango egitaliiyo okumala emyaka ebiri okutuusa kkooti lwe yagigoba, ng’era abantu babiri okuli Muzeeyi Nakawooya wamu ne Abdul bombi baafa olw’okutulugunyizibwa tusaba Minisita otuyambe tufune obwenkanya,” Namusoke bwe yategeezezza. Abalala abagamba nti baatugunyizibwa kuliko; Ibra Mpako, Daniel Tayitika (61), Rev. Canon James Kivunike ne mukyala we n’abalala