Gavumenti ewadde Ekkanisa ya Uganda ebyapa 4,000

GAVUMENTI ekubisizza ebyapa 4,000 n’ebiwa ekkanisa ya Uganda n’ekigendererwa ky’okulwanyisa ekibbattaka.

Minisita Nabakooba ng’ayogera eri Abakristaayo mu kkanisa ya St. Peters Day e Kasalaga mu Mityana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI ekubisizza ebyapa 4,000 n’ebiwa ekkanisa ya Uganda n’ekigendererwa ky’okulwanyisa ekibbattaka.
Bino byayogeddwa minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba bwe yabadde ku mukolo gw’ekkanisa ya St. Peter’s Day e Kasalaga mu disitulikiti y’e Mityana.
Yagambye nti Gavumenti okukubisa ebyapa, yamala kusabibwa bakulembeze b’ekkanisa ya Uganda oluvannyuma lw’okwesanga ng’ettaka lyabwe linyagiddwa.
“Olw’okuba ng’ettaka lino lyali lyaweebwayo mu bigambo nga tewali buwandiike, abaaliwaayo bwe baafa, abooluganda ne beefuulira ekakanisa,” Nabakooba bwe yagambye.
Yeebazizza Ssaabalabirizi Stephen Kazimba Mugalu olw’okukolagana nabo obulungi n’abawa ebintu byonna ebyetaagisa. Yagambye nti omuntu okubeera n’ekyapa bwe bujulizi obukakasa nti ye nnannyini ttaka. Kino kye kijja okukuuma ettaka ly’ekkanisa eritaliiko kikolerwako.
Kyokka yasoomoozezza ekkanisa okukozesa ettaka lyayo kuba bwe babeera balikolerako si kyangu kulisaalimbirako.
Mu June w’omwaka oguwedde, Nabakooba lwe yatongoza kawee-fube w’oku- kubisa ettaka ly’ekkanisa ya Uganda lyonna ku mukolo ogwali ku kitebe ky’obwa Ssaabalabirizi e Namirembe.
Nabakooba yawa abakulembeze b’ekkanisa amagezi okuwandiika abasenze bonna abali ku ttaka lyabwe babamanye kibayambe okutangira abalala okulyesenzaako.
Akulira ebyettaka mu kkanisa ya Uganda, Rev. Jasper Tumuhimbise yategeeza nti wadde balina mailo z’ettaka 89 kyokka ebitundu 60 ku 100 teririna byapa.
Ssaabalabirizi Kazimba yategeeza nti ettaka lyabwe erisinga lyaweebwawo abantu ssekinnoomu nga beeyagalidde, nga tewali ndagaano