Omusolo gw'okulunda enkoko

ENKYA ku Lwomukaaga gwe musomo gwa Bukedde ogw’okusomesa abalunzi n’abaagala okuyingira obulunzi bw’okulunda enkoko nga bizinensi.Omusomo guno gutegekeddwa olupapula lwa Bukedde okuyita mu miko egisomesa ku byobulimi, obulunzi n’okukola bizinensi.

Omusolo gw'okulunda enkoko
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENKYA ku Lwomukaaga gwe musomo gwa Bukedde ogw’okusomesa abalunzi n’abaagala okuyingira obulunzi bw’okulunda enkoko nga bizinensi.
Omusomo guno gutegekeddwa olupapula lwa Bukedde okuyita mu miko egisomesa ku byobulimi, obulunzi n’okukola bizinensi.
Gutegekeddwa ku ffaamu ya Biwooma e Namayina-Manyangwa, Gayaza. Okugwetabamu osasula 100,000/- nga kuno kuliko ekyemisana kuba omusomo gwa lunaku lulamba. Abaddukanya faamu eno bagamba nti olw’okuba ekifo kya ffaamu bagenda kutwala abantu batono noolwekyo omuntu ayagala okugwetabamu, alina okwanguwa okwekwata ekifo.
Ggwe ayagala okwetaba mu musomo guno yita ku ssimu nnamba; 0782080841 oba 0782920726 okwekwata akatebe ko nga bukyali n’okwongera ebirala ebisingawo.
Omusomo gwakutandika ku ssaawa 3:00 ez’okumakya okutuuka ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi ng’abanaagwetabamu bakubirizibwa okukuuma obudde kuba eby’okusoma bingi, era gwakutandika n’okulwanyisa obulwadde okutandikira ku geeti.
Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo, abavubuka n’ebitone y’agenda okubeera omusomesa omukulu. Yagambye nti omuntu omulunzi oba ateekateeka okulunda enkoko nga bizinensi talina kusubwa musomo guno.
“Ekimu ku biremesezza abantu mu Uganda okufuna mu bizinensi ze batandika, butabeera na magezi ku kye baagala okukola. Okuyita mu musomo guno tugenda kugabana naawe ebikulu ebigenda okukuyamba okukola ssente mu bizinensi y’okulunda enkoko,” bw’agamba.
BUKEDDE EREETA KISINGA
Michael Mukasa Ssebbowa akulira olupapula lwa Bukedde abategese omusomo guno, yakunze abalunzi b’enkoko, abalina bizinensi ezitambulira ku nkoko nga emmere, eddagala n’ebirala ssaako abaagala okutandika okulunda enkoko nga bizinensi obutasubwa musomo guno.
“Omusomo guno y’entandikwa y’emisomo gye tugenda okutegekanga buli luvannyuma lwa kaseera nga tutambula n’omuko twatandika okutuusa ku basomi baffe okulunda n’okulima nga bizinensi,” Ssebbowa bw’akkaatirizza