PULEZIDENTI Museveni asuubizza bannaddiini okubateerawo ssente z'emyooga ezaabwe ez'enjawulo kibayambe okulwanyisa obwavu nga mu maka mu kisanja ekijja.
Catherine Kusasira ng'asanyusa abantu
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
PULEZIDENTI Museveni asuubizza bannaddiini okubateerawo ssente z'emyooga ezaabwe ez'enjawulo kibayambe okulwanyisa obwavu nga mu maka mu kisanja ekijja.
Bannakibiina kya NRM
Bannaddiini ab'enjawulo bamaze ebbanga nga bansaba mbateerewo nabo essente z'emyooga ne PDM kubanga kibeera kizibu ennyo okubuulira mu kkanisa , Klezia oba omuzikiti ku bwavu abantu bwe balina okubulwanyisa kyokka nga naawe abulira oli mwavu.
Anita Among ng'ali ne bannakibiina kya NRM
Mu ngeri y'emu n'omuyimbi Alien Skin alangiridde nga bwayingidde ekibiina Kya NRM kubanga akooye okwekomoma n'asalawo ayogere mu lwattu kubanga Museveni byakoledde abaana ba Ghetto bimala