Nixon ne Minana baweze obutadda mu kkooti e Nakawa

EYALI omukambwe wa Flying Squad, Abdulnoor Ssemuju ‘Minana’ n’eyali akulira ebikwekweto bya poliisi Nixon Agasirwe bwe bali ku misango gy’okutta Joan Kagezi baweze obutadda mu kkooti e Nakawa singa oludda oluwaabi terumaliriza mu bwangu okunoonyereza ku musango guno.

Kayiwa n’ekyebbeeyi kye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EYALI omukambwe wa Flying Squad, Abdulnoor Ssemuju ‘Minana’ n’eyali akulira ebikwekweto bya poliisi Nixon Agasirwe bwe bali ku misango gy’okutta Joan Kagezi baweze obutadda mu kkooti e Nakawa singa oludda oluwaabi terumaliriza mu bwangu okunoonyereza ku musango guno.
Okuwera kuno baakukoledde mu maaso g’omulamuzi Daphine Ayebare owa kkooti ento bwe baabade balabiseeko okumanya oludda oluwaabi we lutuuse mu okunoonyereza. Bwe baasomye fayiro y’omusango guno, omuwaabi wa Gavumenti Mahatimah Odongo n’ategeeza ng’okunoonyereza bwe kutannaggwa, n’asaba okubongerayo ku budde.
Kino tekyasanyudde Minana ne Nixon ne beemulugunya eri kkooti olw’okuba-kandaaliriza ku limanda. Nixon asabye kkooti waakiri baddemu okubaleeta mu kkooti eno ng’okunoonyereza kuwedde basindikibwa mu Kkooti Enkulu erina okubawozesa.
Bombi baaweze obutaddamu okulabikako mu kkooti oludda oluwaabi bwe luba terunnamaliriza okunoonyereza kwalwo. Baagambye abantu be bagamba nti bazza nabo emisango bali mu Kkooti Enkulu bawozesebwa, waliwo n’abakkiriza omusango kyokka bo kkooti ento ebakandaaliriza.
Oluvannyuma lw’okuwulira okwemulugunya kwa Nixon ne Minana, omulamuzi yabazzizzaayo ku limanda okutuusa nga October 15, 2025. Okusinziira ku ludda oluwaabi, kigambibwa nti Nixon ne Minana n’abantu abalala nga March, 30, 2015 mu bugenderevu baavaako okufa kw’eyali omuwaabi wa Gavumenti Joan Kagezi