Akabenje kagudde e Namyoya ne kalumya aba NUP 6 ababadde bavuga 'convoy' mu kuwenja akalulu

Abawagizi b'ekibiina kya NUP abawerako, balumiziddwa ne baweebwa ebitanda mu ddwaaliro e Naggalama, mu kabenje akagudde e Namyoya.

Akabenje kagudde e Namyoya ne kalumya aba NUP 6 ababadde bavuga 'convoy' mu kuwenja akalulu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#NUP #Kabenje #Kugwa #Bawagizi

Abawagizi b'ekibiina kya NUP abawerako, balumiziddwa ne baweebwa ebitanda mu ddwaaliro e Naggalama, mu kabenje akagudde e Namyoya.

Akabenje Kano  kabadde Namwoya, ku luguudo oluva e Nakifuma okudda e Kayunga, bwe babadde bawerekera eyeesimbye okuvugunya ku ntebe y'obukulembeze bw'eggwanga Kyagulanyi Sentamu e Kayunga.

Kabaddemu emmotoka Mistubish Rose nnamba UAZ 064H ne pikipiki nnamba UFQ 569H Bajaj boxer, UGH 892B, UEK 351T, UFQ 250Q, ne pikipiki endala.

Abalumiziddwa, kuliko Bashir Kewanza 27, Bashir Kakaire 35, Musa Sempereza 40, Micheal Kisomba 28, Eric Ssewaya 23, Robert Mutagubya 24, n'abalala era nga bali mu kufuna bujjanjabi mu ddwaaliro lya St. Francis Naggalama e Mukono.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti   akabenje kavudde ku pikipiki kutomeregana n'emmotoka olwo endala nazo, be zikosebwa n'abazibaddeko nga bava e Kalagi okwolekera e Kayunga.

Agasseeko nti kaaliba nga kavudde ku kuvugisa kimama era okubuuliriza kugenda mu maaso.