Nnamutikwa w’enkuba afudembye emisana ga leero alese Bannakampala bamwasimula bugolo oluvannyuma lw’amazzi okuwaguza ne gayingirira amaduuka gaabwe ne gaboononera emmaali yonna.
Abasuubuzi mu kizimbe kya Qualicel nga bagezaako okuyoola amazzi.
Ebimu ku bizimbe ebikosedwa kwe kuli ekya Qualicel nga we tuutuukiddeyo tusanze abasuubuzi babakanye n’omulimu gw’okusena amazzi mu bizimbe ate abalala bawaliriziddwa okufuna genereeta ezikuba amazzi okusobola okubayambako okugafulumya.Basabye gavumenti ebayambe ku myala egibaliraanye kuba nti buli lwe gibooga amazzi gaggweera mu mmaali yaabwe.