Gen. Mugisha Muntu atongozza Manifesto ye n'asuubiza okukyusa obulamu bwa bannayuganda

Gen.Gregory Mugisha Muntu akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation Bendera ku bwa Pulezidenti atongozza Manifesto ye n'alambika ebintu eby'enjawulo  by'agenda okukolako ng'essira waakulissa ku kulwanyisa obwavu okuviira Ddala mu Maka. 

Mugisha Muntu ng'alaga Manifesto ye
By James Magala
Journalists @New Vision
Gen.Gregory Mugisha Muntu akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation Bendera ku bwa Pulezidenti atongozza Manifesto ye n'alambika ebintu eby'enjawulo  by'agenda okukolako ng'essira waakulissa ku kulwanyisa obwavu okuviira Ddala mu Maka.
 
Gen.Mugisha Muntu nga awerekeddwako Bannakibiina kye okubadde eyaliko akulira oludda Oluwabula gavumenti mu Palamenti,Winnie Kiiza,omukwanaganya w'ekibiina kya ANT Alice Alaso n'abalala Manifesto y'ekibiina bagitongolezza ku mukolo ogubadde Munisipaali ya Makindye West mu Kampala.
 
Mu kwogera kwe Gen.Mugisha Muntu agambye nti mu Manifesito yaabwe batunuulidde okulwanyisa obwavu okuviira Ddala mu maka okulabanga buli Munnayuganda abeera mu mbeera emusobozesa okwetuusako ebyetaago eby'obulamu obwabulijjo.
 
Gen.Mugisha Muntu agambye nti singa obwavu bulwanyisibwa okuva mu Maka Bannayuganda baakusobola okuweerera abaana baabwe mu Masomero amalungi n'okwetuusako obujjanjabi.
Mugisha Muntu ne bannakibiina mu kutongoza ekibiina

Mugisha Muntu ne bannakibiina mu kutongoza ekibiina

 
Ku nsonga y'Akalippagano k'Ebidduka mu Kampala Gen.Mugisha Muntu agambye mu gavumenti ye wakukinogera Eddagala ng'assaawo Eggaali z'omukka Entonotono ku Nguuzo zonna ezifuluma ekibuga Kampala okusobola okusobozesa Bannakampala okutambula mu budde okugenda ku mirimo gyabwe.
 
Gen.Muntu era alambuludde ku ntekateeka y'okulabanga wazimbibwawo Enguudo za Bus zokka okuyambako ku Ntambula era n'alambula ku ngeri gy'ateseteese okuyamba aba Taxi ne Bodaboda nabo okusigala mu Kampala mu mbeera ennungi.
 
Ku Bbula ly'emirimo erisusse mu bavubuka Gen.Muntu agambye nti wakussa essira ku kutumbula eby'obulambuzi ng'ayita mu kuwola Bannayuganda Ssente okulabanga bazimba Woteeri ezisobola okusuza abalambuzi n'okuwa abavubuka emirimo.
 
Eno Omukwanaganya wa ANT,Alice Alaso,ayogedde ku kizibu ky'abaana abawala abaggwera ku Byeyo mu Mawanga ga Buwarabu n'ategeeza nti gavumenti yaabwe yakusaggulira abavubuka abasomye emirimo mu mawanga g'ebweru kyokka nga bakolera wano mu Uganda.
 
Alaso eri ategeezezza nti baakwongeza omuwendo gw'Abasawo mu Malwairo era bazimbe Amalwaliro ag'omuntindo agasobola okujjanjaba Endwadde Enkambwe omuli;Ensigo kitaase Bannayuganda abatasobola kugenda India.
 
Aba ANT era beyambye okussa Essira ku kuweerera abaana abaliko obulemu okulabanga baweebwa ebikozesebwa byonna byebetaaga nga Alice Alaso bw'alambulula.
 
Ku nsonga y'Abanoonyi b'Obubudamo abayitirivu abeyiwa mu Uganda buli lukya aba ANT bagamba nti baakussawo enjogerezeganya z'okukuuma emirembe mu Muwanga agali Ddukadduka okulabanga Abanoonyi bakendeerako.
 
Bo Bannakibiina kya ANTI okubadde Ambasada Edith Ssempala eyalilo Omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya America,bakunze abavubuka okuwagira Gen.Mugisha Muntu basobole okufuna enkyukakyuka gyebayaayanira mu Ggwanga lyabwe