Muntu asuubizza okukulaakulanya ebibuga bya Uganda ekkumi n’omukaaga ng'afuuse pulezidenti

Eyaliko omuduumizi wa UPDF, Maj. Gen.Gregory Mugisha Muntu agumizza Bannayuganda nti waakukulaakulanya ebibuga bya Uganda byonna 16 ssinga bamulonda ku bwapulezidenti.

Muntu asuubizza okukulaakulanya ebibuga bya Uganda ekkumi n’omukaaga ng'afuuse pulezidenti
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mugisha Muntu #Uganda #Kukulaakulanya #Mukaaga #Muntu

Eyaliko omuduumizi wa UPDF, Maj. Gen.Gregory Mugisha Muntu agumizza Bannayuganda nti waakukulaakulanya ebibuga bya Uganda byonna 16 ssinga bamulonda ku bwapulezidenti.

 

Mu kusaggula akalulu mu kibuga ky'e Hoima, Muntu,yalaze obwennyamivu olw'embeera ebibuga bya Uganda 16 gye birimu gye yagambye nti teyeeyagaza okuviira ddala ku Kampala.

Muntu bwe yabadde ayogerako n'abantu b'e Hoima eggulo ng'asaggula akalulu.

Muntu bwe yabadde ayogerako n'abantu b'e Hoima eggulo ng'asaggula akalulu.

Muntu awadde eky'okulabirako nti ekibuga Kampala kikubibwa amataba buli enkuba olw'etonnya nga obuzibu yabutadde ku bulagajjavu mu bakugu abateekwa okuteekerateekera ebibuga be yagambye nti tebafaayo kuwa bantu Ppulaani ntuufu butya bwe bateekwa kuzimba mu bibuga n'ategeeza nti ssinga afuuka Pulezidenti waakukakasa nti buli kimu kiteekebwatekebwa bulungi mu bibuga.

 

Bo abantu abalina ettaka mu bibuga kyokka nga tebalina ssente zaakuzimba bizimbe ebyo ebituukana ne ppulaani z'ebibuga, Muntu abasuubizza nti bwe bamulonda ku bwapulezidenti waakubateerawo ensawo ey'enjawulo mwe basobola okwewola ssente ku magoba amatono ne bazimba ebizimbe eby'omulembe olwo ne basasula gavumenti n'ebibuga ne bikulaakulana.

 

Ku nsonga y'omugotteko gw'ebidduka ogubeera  mu bibuga, Muntu,agambye nti nakyo bagenda kukisalira amagezi okulabanga batereeza entambula ey'olulake nga beeyambisa bbaasi kiyambeko okwagazisa abantu okuzikozesa okusinga buli muntu lw'avuga emmotoka ekisannyalaza entambula y'emirimo mu bibuga.

 

Muntu, agambye nti mu gavumenti amakolero gaakuggyibwa mu bifo awali abantu gassibwe mu bifo byago okwewala emikka egy'obulabe gye bafulumya okukosa abantu b'omu bibuga.

 

Wano Muntu akunze abantu b'omu kibuga byonna 16 okwegatta ku Bannayuganda bonna bamulonde ku bwapulezidenti asobole okutekateeka eggwanga obulungi bonna balyeyagaliremu.