SIPIIKA wa palamenti Anita Annet Among era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bukedea alangiriddwa okuddamu okuvuganya ku kifo kye kimu omulundi ekisanja eky’okusatu.

Among ng'agabira abalonzi t-shirt nga tannaba kugenda kusunsulwa.
Ono yasimbudde mu maka ge e Kamutul mu ggombolola y’e Bukedea ku ssaawa bbiri n’eddakiika 40 ng’awerekeddwako kabiite we Ying. Moses Magogo.
Ayimiriddeko e Kolir n’agabira abaawo ku bantu essaati za Museveni wamu ne mifulaano era nga wano abantu babadde baziyaayaanira buyanirizi oluvannyuma ne yeeyongerayo.
Ku kitebe kya disitulikiti w’asunsuliddwa ayaniriziddwa eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang, ababaka ba palamenti okubadde Shartisi Musherure, Patrick Isiagi, Muhammad Ssentayi, Ibanda Rwemulikye n’abalala.

Ssekandi (ku kkono) ng'ayaniriza Among we yabadde atuuse okusunsulibwa
Charles Joel Mugenyi, akuliramu okulondesa e Bukedea alangiridde Among ng’omuvuganyi omujjuvu okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bukedea era n’amutegeeza nti bwe wanaabawo omulala amwesimbyeko ajja kumutegeeza.
Amusabye obutawenja kalulu mu kadde kano okutuusa nga 12 omwezi ogujja wabula ng’akkiriziddwa okwogerako eri abalonzi be olwaleero.
Ku balala abaasunsundwa kwabadde omubaka wa Kachumbala County, Patrick Opoloti Isiagi ne Okwere David Bichamu ku kya Bukedea County.
Ono oluvannyuma lw’okusunsulwa ayiseeko ku Bukedea Township PS w’asanze abamu ku bawagizi abanwaniriza n’amazina kw’osa ennyimba olwo ne batambula nga boolekera ku kisaawe kya Bukedea Comprehensive school gye baakubye olukungaana.
Akulira okulondesa mu NRM Tanga Odoi wamu n’abakulembezze okuva mu kakiiko akafuzi aka NRM okwabadde Collins Tanga , Moses Mushabe ababaka okubadde John Faith Magoro,Robert Kinobere, Racheal Magola nabo bamwegaseeko ku kisaawe Kya Bukedea Comprehensive Stadium ne basabira pulezidenti Museveni akalulu.
Sipiika Among yasabye abantu be nti bwe kiba kisoboka bamukomyewo nga tavuganyiziddwa kubanga by’akoze byeyogerera era enkulaakulana mu kitundu erabibwako.
Agambye nti tatya ku kya muntu yenna kujja muvuganya kubanga ye mumativu nti abantu be bagenda mulonda ebitundu 98 ku 100.
Asuubizza okwongera okuwagira ebibiina by’obwegassi mu kisanja ekijja omuli eby’abakyala, abavubuka n’ebirala.
Yenyumiriza mu mirembe pulezidenti Museveni gye yaleeta n’agamba nti mu kitundu kye abantu baali basula kutebuukye naye nga kati embeera yatebenkera.
Bba Ying. Moses Magogo yeebazizza abantu asiimye abantu olw’okumulondera omulungi we n’asaba bamukomyewo ekisajja ekirala ayongere okubakolera.