OMUSAJJA eyasibwa nga yaakaggulawo omusango mu kkooti gw’ebbanja ery’obukadde 300 ku ttaka lye yatunda, akomyewo nga gugobeddwa n’asoberwa, si mumativu na byasalibwawo.
Francis Bossa Kinobe ye yali yaakawawaabira Paul Okoboi mu kkooti e Mengo ku musango 04 06/2024 ng’amulanga kulemererwa kumusasula obukadde 30 obwasigala ku bukadde 300 ze yamuguza ettaka mu 2022 erisangibwa e Wakaliga Zzooni VII block 12.
Okoboi ye yamatira era talabawo nsonga lwaki Bbosa addamu okuggulawo omusango ogwagobwa edda.
Okusinziira ku bujulizi Bbosa bwe yatwala mu kkooti, yalaga nti yaguza Okoboi ekibanja kino obukadde 300 nga December 6, 2022 era ku olwo n’amuwaako obukadde 20 n’amusuubiza okumumalayo mu kaseera katono.
Baalaganaana ssente okuzimuwa mu bitundu bibiri okwali nga December 13, 2022 ng’aleeseeko obukadde 50 ne nga December 23, okuzimalayo n’obukadde 230 ezaali ez’okusasulwa mu bbanka.
Bbosa agamba nti Okoboi teyagoberera ndagaano ya kumusasula era ssente yajjanga azimuwa kasoolesoole okutuusa bwe yalekerera ddala awo n’asalawo okumutwala mu kkooti emukake azimuwe mu mateeka.
Ono nga kyaggye amugguleko omusango, ate yakwatibwa mu November wa 2024 n’asibwa e Luzira emyezi mukaaga n’atalekaawo agugoberera.
Okoboi yeeyambisa omukisa guno n’asigala nga ye ajja mu kkooti okutuusa omulamuzi bwe yagugoba nga teri agoberera n’alagira nti amuvunaana bw’aliba akyagulinamu obwetaavu aliddamu n’aguggulawo.
Oluvannyuma lw’okuyimbulwa nga May 28, 2025, Bbosa yatuuse mu kkooti ng’omusango gwagobwa ne yeewuunya. Kinobe yayise mu bannamateeka be aba Najjuma, Nakalule & Co Advocates n’aguttukiza ku 0538/2025 ng’ayagala Okoboi addemu avunaanibwe amusasule ssente z’amubanja.
Ng’ayita mu bannamateeka be aba M/s T. odeke & Co Advocates Okoboi naye yamwanukudde ng’agamba nti, yalemererwa okulabika mu kkooti ng’omusango gugenda mu maaso newankubadde yali mu kkomera kyokka wadde okutuma ababaka okumukiikirira!
Bano baagasimbaganye n’akulira abalamuzi ba kkooti ya Mwanga II e Mengo ow’okusatu Mariam Ssemwanga Naluggya ne bassaamu okwemulugunya kwabwe buto era n’abalagira okudda nga January 18, 2026 gutandike okuwulirwa buggya.