Cadet Benjamin Buturo nga y’akwatidde ekibiina kya NRM bendera okukiikirira abantu b’e Bunyaruguru mu Lukiiko lw’eggwanga olukulu yeewandiisizza mu butongole mu kakiiko k’ebyokulonda ku kitebe kya disitulikiti y’e Rubiriizi.
Cadet abadde awerekeddwako mukyala we kw’ossa abakulembeze ba NRM ku mitendera egy’enjawulo mu disitulikiti y’e Rubirizi .
Twogeddeko naye n’annyonnyola biki by’agenda okutandikirako ssinga abe Bunyaruguru bamwesiga okubakiikirira mu Palamenti.
Akunze bannayuganda okulonda pulezidenti Museveni mu kalulu ka bonna era nga bali mu nteekateeka ezimwaniriza mu kitundu kino mu mwezi gwa December omwaka guno.
Mu bazze okwewandiisa abalala ye Atwijukire Boaz, owa konstityuwensi y’e Katerera ng’ono naye ayogedde biki by’agenda okutandikirako omuli okukyusa ekifaananyi ky'ekitundu kino kw’ossa n'okutandikirawo abavubuka emirimu.