ABANTU abasoba mu 50 abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka, bayooleddwa

ABANTU abasoba mu 50 abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka, bayooleddwa mu bikwekweto ebigenda mu maaso n'okukolebwa poliisi, okwongera okukuuma obutebenkevu.

Abamu ku bavubuka abakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABANTU abasoba mu 50 abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka, bayooleddwa mu bikwekweto ebigenda mu maaso n'okukolebwa poliisi, okwongera okukuuma obutebenkevu.

Mu bikwekweto bino, ebikoleddwa ku old Kampala, Nansana ne Kinnawattaka, era bazudde enjaga ewerako , ebiso , obwambe, ebyuma n'ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe era ng'okusunsulamu , kugenda mu maaso.

Abamu ku bayooleddwa

Abamu ku bayooleddwa

Ekikwekweto ekisoose, kikoleddwa mu Wamala, Kasumba, Karanzi, Kinyarwanda ne Tabba e Nansana ,ng'eyo bakutteyo Munaana, ate yo mu Katoogo, Thailand, Kaggo e Kinnawattaka embuya, bayodde 16.

Ku Old Kampala e Nakulabye, ne Kisenyi, bakutte 24 n'ebintu ebiwerako omuli enjaga n'ebiso era ng'okubasunsulamu , kugenda mu maaso ng'amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, bw'annyonnyola.

Ayongeddeko nti bakyagenda mu maaso n'okusomesa abantu ku ngeri y'okwekumamu mu maka n'okumanya ebifa mu baliraanwa baabwe , okwongera okunyweza ebyokwerinda nga twetegekera ennaku enkulu.