Poliisi ekutte 17 ku by'okubbira abayizi ebigezo e Masaka!

ABANTU 17 abagambibwa okwenyigira mu kukoppa n'okubbira abayizi ebigezo by'ekibiina eky'omusanvu, bakwatiddwa poliisi e Masaka.

Poliisi ekutte 17 ku by'okubbira abayizi ebigezo e Masaka!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#PLE #Masaka #Bigezo

ABANTU 17 abagambibwa okwenyigira mu kukoppa n'okubbira abayizi ebigezo by'ekibiina eky'omusanvu, bakwatiddwa poliisi e Masaka.

 

Ku ssomero lya St. Kizito Butenzi P/S e Masaka, abasomesa 8 bakwatiddwa n'ebigambibwa okuba ebizibiti , bwe babasanze bawandiikira abayizi ebigezo ku mbaawo.

 

Abakwatiddwa kuliko Jackson Ngobya, Ashiraf Kavuma, Misaaki Jjuuko, Ronald Kyusa , Micheal Sempijja , Isma Mubiru, Adam Turyasungula, ne Asharif Waiswa.

 

E Rakai , Nuuwa Katende akwatiddwa nga yeyita UNEB Scout ate nga yo e Kyotora,  abakuuma ebigezo 6 okuva mu UNEB nabo bakwatiddwa ku bigambibwa nti  beenyigidde mu kubbira abayizi ebigezo.

 

Abakwatiddwa , kuliko Harriet Nakityo, John Lubega , Sulait Mulindwa, Annet Nassamula, Sylivia Nassango , ne Gonzaga Ssekitooleko.

 

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, ategeezezza nti okubakwata, kyaddiridde okusanga omuyizi n'akapapula okwabadde answer akamuweereddwa abantu bano.