Dr. Ssemugenyi n'abawagizi be beemulugunyizza eri ak'akakiiko k'ebyokulonda

MUNNABULAAYA Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi atutte mmotoka z'abawagizi be ezisoba mu 10 abaamuwa emikono ku kakiiko k’ebyokulonda babeerewo ng’asisinkana ssentebe Simon Byabakama okumunyonyola lwaki yagaanibwa okuvuganya ku Bwapulezidenti ate nga buli kimu yali akirina.

Dr. Ssemugenyi n'abawagizi be beemulugunyizza eri ak'akakiiko k'ebyokulonda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MUNNABULAAYA Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi atutte mmotoka z'abawagizi be ezisoba mu 10 abaamuwa emikono ku kakiiko k’ebyokulonda babeerewo ng’asisinkana ssentebe Simon Byabakama okumunyonyola lwaki yagaanibwa okuvuganya ku Bwapulezidenti ate nga buli kimu yali akirina.

Yagambye nti yatambula mu disitulikiti 120 ng’abantu bamuwa emikono era akakiiko ne kasooka kamukakasa nti agiwezezza wabula oluvannyuma ne bamulemesa okuvuganya .

Dr Ssemugenyi yagambye nti ayagala annyonnyolwe ensonga lwaki akakiiko tekalina bwenkanya ate nga buli kimu yakituukiriza.

Yategeezezza nti alina n’omusango mu kkooti Enkulu era ayagala agattibwe ku bavuganya atandikirewo kubanga obusobozi abulina era n’abawagizi weebali kubanga bonna abaleese babalabe mu mmotoka ezisoba mu 10. Gye buvuddeko yatandikawo ekibiina ekirwanirira obutonde bwensi n’okusimba emiti era mukugu mu byenfuna ate munnamateeka eyavudde mu America.

Kyokka Byabakama yagambye nti Dr. Ssemugenyi waddembe okwemulugunya era bagenda kumuwa lipooti nga bamaze okunoonyereza lwaki teyakkirizibwa.

Mu kiseera kye kimu ,eggulo kaalangiridde eyali akulira essengejjero ly’amawulire Ofono Opondo  ng'omubaka wa Palamenti eyayiseewo nga tavuganyiziddwa ku kifo ky'abakadde atwala ekitundu kya Eastern Region oluvannyuma lw'akakiiko okuzuula nti munna DP Joram Mpande yakozesa emikono gy'abaamusemba nga tagibasabye.

Abalala abaawuliriziddwa kuliko bakansala baabakadde okuva e Nakawa, abalala kuliko abavuganya ku kifo ky’obwammeeya bwa Makindye okuli Yasin Omar, John Bosco Lusaggala ne Tabalamule .

Abali ku ludda oluvuganya Gavumenti balumirizibwa okukozesa emikono gy'abantu okubasemba nga tebabasabye .