Omusajja ow'emyaka 35 agambibwa okuba omubbi w'embizzi, abatuuze bamukakkanyeko ne bamukuba ne bamuttira e Buikwe.
Ku mabbali w'omulambo ogusuuliddwa ku luguudo oluva e Lugazi okudda e Kasokoso, wabaddewo embizzi ensale ng'epakiddwa mu kiveera ekya kiragala, ng'esuubirwa okuba enzibe gye bamusanze nayo.
Ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo , Jane Namayega, y'atemezza ku poliisi n'eggyawo omulambo okugutwala mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Kawolo okwongera okugwekebejja, ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa, Hellen Butoto, avumiridde ekikolwa ky'okutwalira amateeka mu ngalo, n'agattako nti banoonya abaamusse.