Omuntu omu afiiridde mu kinnya kya kazambi n'omulala n'amenyeka omukono, bwe babadde bali mu kukisima.
Abalala babiri basobodde okusimattuka n'ebisago ng'omu amenyese eggumba ly'omukono ,era nga poliisi etandikiddewo okunoonyereza okuzuula oba nga wabaddewo obulagajjavu.
Enjega eno, abadde ku kizimbe kya West Mall e Komamboga Central zooni mu Kawempe municipality mu Kampala, ettaka bwe libumbulukuse ne libikka Abubakar Mukwaya 28 plumber n'afiirawo.
Bino okugwawo, babadde basima kinnya kya kazambi okuliraana ekirala ekibadde kyazibikira, kwe kubomoka ne kibabikka.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, asabye abantu okukozesa abantu abalina obukugu mu mirimu , okwewala obubenje.