EMIVUYO gyetobese mu kulonda kwa bakansala b’abaliko obulemu n'abakadde mu bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga akaabuutikiddwa ekibiina kya NRM era mu bitundu ebimu baakubaganye ebikonde n’emiggo nga balumiriza abamu ku beesibyewo okubba obululu.
E Kawempe okulonda kwa kwabadde ku yunivasire e Makerere wabula bangi ku beesimbyewo baavuddewo tebamatidde. Okuvuganya ku ky’abaliko obulemu kuli wakati wa Steven Mandera (IND), Simon Muyambi (IND), Noah Ssewankambo (NRM) ng’abakazi okuvuganya kuli wakati wa Gladys Nantumbwe (NRM) Joyce Kyomugisha (IND), ne Leocardia Atuhaire (IND). Nassolo owa NRM yawangudde ku ky’abakadde n'obululu 98 ate Tebyasa n’afuna 16. Abasajja, Mayombwe yawangudde n'obululu 85 ate Katsikano yafunye 13.
LUBAGA
Josephine Nanteza owa NRM yawangudde obwa kansala w’abavubuka. Mu k’abaliko obulemu, Lilian Walugembe owa NRM yawangudde ku bululu 27 ate Ali Kibirango Mukasa atalina kibiina n’akiikirira abasajja abaliko obulemu. Ku ky’abakadde; Eva Nalunga NRM ne Ahmed Kyewalabye naye NRM, baayitawo nga tebavuganyiziddwa.
MUKONO
Abavubuka ba NRM baawakanyiza ebyavudde mu kulonda oluvannyuma lwa Muluta Kato owa NUP okulangirirwa n’obululu 270 ate owa NRM Brian Ssentongo n’afuna 239. Mu bawala, Margaret Nattabi owa NUP yalangiriddwa ku bululu 290 ate Olivia Joyce Nakibuule owa NRM n’afuna 229. Ku kifo ky’abaliko obulemu, Sarah Catherine Nanfuka owa NRM yawangudde ate Wilberforce Mugera n’awangula ekya kkansala w’abakadde.
KAMULI
Kansala omuvubuka omulenzi ye Alex Kayima owa NRM nga yafunye obululu 219. Kansala w’abavubuka omuwala ye Shadia Namuwaya nga talina kibiina kibiina. Rehema Birungi ne Maurice Lwigale nga bonna ba NRM baawangudde ebifo by’abakadde