LOODIMEEYA wa Kampala omulonde, Ying. Ronald Nsubuga Balimwezo yatukyaliddeko wano ku Bukedde Famire etwalibwa Vision Group mu kibangirizi kya Bannamakkolero.
Yasoose ku Bukedde Ttivvi, Bukedde Fa Ma Embuutikizi era ng'abuuza ku bawandiisi mu mpapula okuli Newvision ne Bukedde.
Yasinzidde ku Bukedde Fa Ma Embuutikizi kwakyaziddwa Maneja waayo Ronald Sebutiko n'alaga byagenda okutandikirako okuli okugatta oluuyi lw'ebyobufuzi ate n'olwekikugu mu Kampala.

Balimwezo ng'annyonnyola ensonga za Kampala
"Kasasiro aleetera Kampala ebizibu bingi okuli okuleeta amataba n'okwonoona enguudo ng'azibikira emyala. Abo abasasanya kasasiro ngenda kubasiba singa tebatambulira ku mateeka agakwata ku buyonjo," Ying. Balimwezo bweyagambye.
Ying. Balimwezo yagambye nti agenda kukuba enkungaana n'okukola ensisinkano n'abakwatibwako ensonga mu Kampala okufuna ebirowoozo byabwe ku Kampala ki gwebaagala.
Ku nsonga y'ettaka mu Kampala, Ying. Balimwezo yagambye nti agenda kunoonya ettaka ly'ekibuga lyonna aliteeke wamu ng'okwo kwebajja okusinziira okuteekateeka enkulakulana.
" Ekibuga tekirina masomero kyova olaba nti abaana bangi bafuuka bakifeesi, kutandika kutawaanya Bannakibuga. N'olwekyo twetaaga Okuzimba amasomero mu kibuga," Ying. Balimwezo bweyayogedde.

Balimwezo ng'awera okukuba ebikonde abo bonna abanaazannyira ku nsimbi z'owmuwi w'omusolo
Abatembeyi, Balimwezo yagambye nti bano beetaaga kuteekerateekera wamu ne bannaabwe aba Bodaboda basobole okuganyulwa obulungi mu mirimu gyaabwe gino.
Yasuubizza okuleeta enkola enasobozesa Bannakampala okuganyulwa mu musolo gwebawa. Mweeno ensimbi ezivudde mu kitundu, kwakuggyibwangako ekitundu kizzibwe wansi, kibereeko emirimu gyekikola ng'era gyakusalibwawo abantu benyinni.
Ying. Balimwezo yeebazizza emikutu gya Bukedde Famire ne Vision Group okutwalira awamu olw'omwagaanya gwebamuwadde ebbanga eriviira ddala eyo mu 2004 ng'atandika eby'obufuzi.