AKULIRA amasomero ga ba Franciscan Capuchin Friars, Rev Fr. Francis Seguya akubirizza Bannayuganda okukomya akavuvung’ano k’ebyobufuzi bakuume emirembe ate baddeyo bakole.
Yasabye abakkiriza okukomya obutabanguko bw’ebyobufuzi n’ategeeza nti ebikolwa ebyo tebirina kirala kye bireeta okuggyako ebisago n’okufiirwa obulamu.
“Tuddeyo tukole ate n’okukuuma obwasseruganda kubanga okulonda kwawedde.” bwe yategeezezza n’asaba Bannayuganda okusigala nga balina essuubi ate n’abayiseemu okukozesa obukugu bw’obukulembeze obulungi okwongera okutwala eggwanga n’ebitundu byabwe mu maaso.
Bino Faaza Sseguya yabyogedde ayigiriza mu kitambiro kya Mmisa gye yakulembedde ng’ekigo ky’Omutuukirivu Padre-Pio Kabulamuliro kijaguza emyaka 12 ku Ssande bukya kitandikibwawo. Ekigo kino omugenzi Ssaabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga yakisala ku ky’e Kisubi nga January 19, 2014.
Fr. Sseguya yabadde ayambibwako abasaseredooti abalala okwabadde omukulu w’ekifo kino, Fr. Remigius Kasibante, Fr. Richard Ogwam, Fr. Marvin Lukyamuzi, Fr. Emmanuel Ssebayigga ono ye mumyuka w’omuwandiisi w’essaza lya Kampala
n’abalala.
Omugenyi omukulu yabadde omu ku Bakristu, owa Nsamizi Institute, Dr Charles Kanyesigye ng’ali ne famire ye abaawaddeyo obukadde 16 buyambe ku mulimu gw’okuzimba Klezia ogugenda mu maaso nga gwetaaga obuwumbi 3 okuggwa.
Ku mukolo guno, abaana abasoba mu 30 baafunye essakramentu lya Komunnyo esooka
(baasembedde omulundi ogusooka) era Fr. Sseguya yagambye nti yeenyumiriza mu myaka 12 ekigo kya Padre-Pio gye kimaze kubanga naye gye myaka 12 gye yaakamala mu Busaseredooti