Amawulire

Abattakisi basabye UTOF enunule takisi zaabwe

BADDEREEVA ba ttakisi ku siteegi ya Kyengera-Masaka basabye abakulembeze b’ekibiina kyabwe ekya UTOF (Uganda Taxi Operators Federation) okununula takisi zaabwe ebbiri ezaaboyebwa bammemba ne bazikukulira nga kati zimaze emyezi mukaaga nga tezikola.

Emu ku takisi gye balumiriza nti, yasimbibwa ku ppaaka y’e Kyengera. Ku ddyo ye, Mayambala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BADDEREEVA ba ttakisi ku siteegi ya Kyengera-Masaka basabye abakulembeze b’ekibiina kyabwe ekya UTOF (Uganda Taxi Operators Federation) okununula takisi zaabwe ebbiri ezaaboyebwa bammemba ne bazikukulira nga kati zimaze emyezi mukaaga nga tezikola.
Ssentebe wa siteegi eno, Hassan Mukasa agamba nti, okulonda ku siteegi yaabwe okwali kulemye kwaggwa oluvannyuma lwa UTOF okubayamba ne beerondera abakulembeze abapya kyokka takisi ze bafunamu ssente beezimbe abakulembeze abavaako ne baziremera.
Takisi zino okuli; UBK 501M ne UBA 881N zaagulibwa bammemba mu nkola ya ‘Welfare’ nga zaali ziyingiza emitwalo 26 buli lunaku.
Jamil Lwanga, omuwandiisi ku siteegi eno yagambye nti, takisi emu ye yasooka okuboyebwa ekibinja ky’eyali Ssentebe wa siteegi Juma Muteesaasira ekyawaliriza ekibinja ekirala nakyo okuwamba eyali esigadde nabo ne bagikukulira.
Yayongeddeko nti, wadde takisi zino bagenda kuzikomyawo, bazaagala mu mbeera nnungi era babanja n’engeri ssente gye zaali zisaasaanyibwamu nga tebannalonda. Wabula Muteesaasira yagambye nti, y’omu ku baatandikawo siteegi eno eraekibatawaanya ngabana era kye kyabaviirako obutakkaanya ne bava ku siteegi olwo bammemba kwe kuzzaako Hassan Mukasa nga Ssentebe.
Muteesaasira yagambye nti, wadde bakkiriza byonna ebyakolebwa, balina okutambuza obulamu nga kati baakola siteegi eyaabwe wabula baagala mugabo gwabwe ku byobugagga bye baaleka ku siteegi eno.
Muteesaasira agamba nti, takisi UBK 501M eyasigala mu mikono gyabwe yasimbibwa mu ppaaka e Kyengera kyokka endala yakwekebwa era zombi zirina okuleetebwa ziddemu okukola.
Yayongeddeko nti, baalibasabye nti, nga bammemba 20 abaatandikawo siteegi eno okuli ne ssentebe Mukasa, baweebwe takisi UBK 501M endala esigale ng’eganyula bammemba ba siteegi abalala.
Wabula amyuka ssentebe wa UTOF, Mustafah Mayambala yagambye nti, bammemba ba siteegi eno baalonda abakulembeze baabwe era batambuza bulungi emirimu kyokka gye buvuddeko baabatuukirira nga baagala okununula takisi zaabwe.
Mayambala agamba nti, balina obusobozi okununula takisi zino wabula yasabye ebiwayi byombi bisooke bikkaanye balonde oluvannyuma balyoke bayingire mu nsonga zino.