Amawulire

Kkooti egobye omusango gw’okuddamu okubala obululu ogw’omubaka Nannyondo

AKULIRA abalamuzi ba kkooti ento e Masaka, Albert Asiimwe agobye okusaba okwateekebwayo omubaka Veronica Nannyondo (NUP) ng'awakanya obuwanguzi bwa Ruth Katushabe (NRM) ku kifo ky'omubaka omukyala owa Bukomansimbi.

Katushabe (ku kkono) ne Nannyondo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AKULIRA abalamuzi ba kkooti ento e Masaka, Albert Asiimwe agobye okusaba okwateekebwayo omubaka Veronica Nannyondo (NUP) ng'awakanya obuwanguzi bwa Ruth Katushabe (NRM) ku kifo ky'omubaka omukyala owa Bukomansimbi.
Nannyondo nga ye mubaka omukazi akiikirira Bukomansimbi nga yaddukira mu kkooti n’agisaba okuddamu okubala obululu mu bifo 8 okuli Bukomansimbi P/S, Kigangazi, Kakuukuulu, Kiryamenvu, Nkalwe, Lugazi ne Kagogo ng’agamba nti, ebyalangirirwa mu bifo bino tebyali bituufu.
Kino kyaddirira akulira akakiiko k'ebyokulonda e Bukomansimbi, Betty Komugyereko okulangirira Katushabe ku buwanguzi n'obululu 23,675, Nannyondo n’afuna 23,481 ng’enjawulo yali ya bululu 206. Nannyondo ng’ayita mu balooya be abaakulembeddwaamu Chrizestom Katumba ne Lawrence Kabuye, baategeeza kkooti ng’akulira akakiiko k'ebyokulonda e Bukomansimbi, Komugyereko bwe yakyusa ebyava mu kulonda mu bifo bino kyokka n’alangiriramu birala ne basaba kkooti ebayambe eddemu okubala obululu.
Kyokka bannamateeka b'oludda oluwawaabirwa nga bakulembeddwaamu Geoffrey Kandeebe n'ow’akakiiko k'ebyokulonda Abubaker Kayondo baategeezezza kkooti nti, ebyakolwa byonna byali mu mateeka okutuuka okulangirira Katushabe nga omubaka omukazi owa Bukomansimbi ne basaba kkooti egobe okusaba kwa Nannyondo n’omuwaabi abaliyirire ssente ze baasaasaanyizza.
Omulamuzi Asiimwe yakkaanyizza n’abawawaabirwa n’ategeeza nti, oludda oluwaabi baalina kuwawaabira kakiiko ka byakulonda nga bakavunaana