Abavubuka 10 abagambibwa okubba, okutemula n'okutulugunya abatuuze b'e Kira mu Wakiso, bakwatiddwa poliisi.
Mu kiwekweto kino ekikoleddwa e Buwaate ne Najjeera ekiro, abeebyokwerinda era bayodde enjaga ewerako omuli enzinge mu bupapula, ey’obusigo n'ebikoola nga nkalu.

Ebimu ku biragalalagala bye baabakutte nabyo.
Kitegeezeddwa nti abakwate, babasanze banywa enjaga nga n'ebiseera ebisinga bwe bamala okuvaako ng'enjogera y'ennaku zino bweri, olwo ne batigomya ebyalo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, ategeezezza nti bonna bakuumirwa ku poliisi e Kira nga bwe bamaliriza ffayiro yaabwe, basobole okubatwala mu kkooti.