OMWOLESO gwa Harvest Money Expo ogw'omulundi ogw'ekkumi , gutongezeddwa enkya ya leero ku ofiisi za Vision Group e Lugogo mu Kampala.
Gwakubeera ku kisaawe e Kololo mu Kampala okuva ng'ennaku z'omwezi February 27, okutuuka nga March 1 era gwakubeeramu okuyigiriza n'okusomesa abalunzi n'abalimu ku bukodyo obw'enjawulo.
Gutongozeddwa amyuka omubaka wa Netherlands mu Uganda, Bouwe - Jan Smeding era nga gwetabiddwako bangi ku bataddemu ssente omuli aba Engsol, Pearl Bank, Hendrix, Netherlands , UDC n'abalala.
Akulira Vision Group, Don Wanyama, asiimye abo bonna abatuubereddewo emyaka 10 egiyise okuva omwoleso lwe gwatandika era n'akunga abantu okujja mu bungi.
Agasseeko nti nga Vision Group eweza emyaka 40 bukya etandikibwawo, basanyufu okulaba nga n'omweleso guno, gwongera okubeera ogw’amaanyi buli mwaka era n'agamba nti Bannayuganda bangi ebitundu 68 ku 100 bayimiriddewo ku bulimi na bulunzi.
Mu kwogera kwe, amyuka omubaka wa Netherlands mu Uganda, Bouwe, agambye nti basanyufu olw'enkolagana ennungi gye balina ne Vision Group mu kaweefube w'okutumbala eby'obulimi.
Annyonnyodde nti bataddemu obuwumbi 4 n'obukadde 100 okuyambako mu mwoleso guno n'omulimi asinga mu myaka egiddiring’ana, okusobola okutumbula eby'obulimi n'obulunzi.
Abamu ku bataddemu ssente okuli Meddie Mwire okuva mu Engineering Solutions, Julius Akais owa Pearl Bank ne Sam Tayebwa owa Tunga nabo bakoowodde abantu okubaayo mu bungi.