AB'EBYOKWERINDA bakutte kkansala wa Nabweru south ku divizoni e Nansana Regan Mukasa nga yaakwatidde NUP bendeera mu kalulu k'obwe ggombolola ya Nansana n'obululu bwagambibwa okwagala okubusuula mu bokisi asobole okuwangula akalulu kano.
ono yakwatiddwa amagye ne munne Shaka shanon nga bawanjagidde abebyokwerinda n'eggwanga lyonna okubasonyiwa olw'okwenyigira mu bikolwa by'okubba obululu nategeeza nga bwabadde alwaniriira ekifo kye asigala nga kkansala wa kitundu kino.
Bano basoose kutekebwa mu drone ya magye ne bakunyizibwa era ne babaako ebyama byebagamba abebyokwerinda kungeri olukwe lw'okubba akalulu gye lwalukiddwamu.
mu kusooka abebyokwerinda nga bakulembeddwamu RDC wa Nansana Charles Lwanga bakutte ne baggalira abebyokulonda ku byekuusa ku kubba obululu nga babbira akwatidde ekibiina kya NUP bendeera kubwa ssentebe bwa divizoni ye Nansana.