Amawulire

Ab’omu Kisenyi balumbye KCCA ku luguudo olwaggalwa

ABATUUZE n’abasuubuzi mu Kisenyi bawandiikidde dayirekita wa Kampala, Hajjat Sharifah Buzeki nga bamuloopera ku luguudo olumaze ebbanga nga luggaddwa omu ku bannaabwe gwe balumiriza okuluzimbamu.

Ab’omu Kisenyi balumbye KCCA ku luguudo olwaggalwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABATUUZE n’abasuubuzi mu Kisenyi bawandiikidde dayirekita wa Kampala, Hajjat Sharifah Buzeki nga bamuloopera ku luguudo olumaze ebbanga nga luggaddwa omu ku bannaabwe gwe balumiriza okuluzimbamu.
Ebbaluwa eriko emikono gy’abatuuze, bannannyini bizimbe n’abasuubuzi abasoba mu 39 okuli Hamza Rwendeye, Alex Mukisa, Paul Yiga, Grace Nansubuga, Abdul Ssekito Festo Kasajja n’abalala, bagiwaddeko minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda, Ofiisi ya loodi mmeeya, omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Ying. Benon Kigenyi, akulira okutegekera ekibuga , Meeya wa Kampala Central Salim Uhuru ne Town Clerk we.
Ebbaluwa eraga nti obulippagano bweyongera buli lunaku olw’enkulaakulakulana y’ekitundu kati ekikubyeeko sitoowa n’amaduuka amanene agasuubuza ebijanjaalo, ebinyeebwa, soya , kasooli n’obuwunga ebireetebwa loole ne lukululana ennene.
Oluguudo olugambibwa okuzimbibwamu lusangibwa mu Mbiro Zooni mu Muluka gwa Kisenyi II mu Kampala Central. Ebbaluwa eraga nti oluguudo lwaggalwa aba ffamire y’omugenzi Mohammed Katimbo abazimba mu poloti 479 ne 480 .
Ssentebe w’ekyalo Mbiro Zooni Muky. Matilda Katabalwa yagambye nti ensonga z’oluguudo luno ziwezezza emyaaka nga ziremye KCCA okukolako. Yagambye nti basooka ne batuula mu lukiiko ku kyalo wakati wa ffamire ya Katimbo n’abatuuze ne basalawo nti tewali akkirizibwa kuzimba mu kkubo era ensonga ziri mu KCCA ye tamanyi kye baliko.
Mu lumu ku lukiiko olwatuula omwaka oguwedde nga lukubirizibwa ssentebe Muky. Katabalwa era nga lwetabiddwamu aba ffamire ya Katimbi abeemulugunyizibwako, baasalawo nti tewali akkirizibwa kuzimba mu kkubo. Kyokka owa ffamire ya Katimbo yategeeza olukiiko nti nga bamalirizza okutereeza ekizimbe kyabwe wansi , ekkubo bagenda kulireka waggulu mmotoka ziyiteko. Yalambuza aba LC n’abatuuze kyayagala okukola kyokka ekyalo ne kimuwakanya nti ettaka lyayingiramu okuzimbamu lya luguudo lyapimibwa dda ne bamusaba azimbe mu poloti ye weekoma. Mu bbaluwa gye baawandiikidde Dayirekita Buzeki , bamulaze nti mu 2022, abapunta ba KCCA baabatwala ne baggula ekkubo era balina empapula eziraga nti oluguudo luweza obugazi bwa miita 6.9 era singa luggulwa , buli mmotoka omuli ne lukululana zigenda kulukozesa naddala ebizimbe bya sitoowa ne akeedi ebisangibwa mu poloti 511, 499,500, 501, 478 n’endala.
Ebbaluwa eraga nti abatuuze bazze beemulugunya ku KCCA okugaana okubayamba era nga September 04 2023, balina ebbaluwa ya minisita wa Kampala ng’ayimiriza okuzimba mu luguudo luno. Nga June 03 2025 , aba LC baawandiikira Dayirekita wa Kampala n’akulira ekibuga babayambe nti naye tewali kyakolebwa.
Baasabye Buzeki ayimirize n’okumenya ebizimbiddwa mu kkubo.