GAVUMENTI ya Uganda esabiddwa Okuzimba amalwaliro agajjanjaba abalwadde b'emitima mu bitundu by'eggwanga ab'enjawulo kigonze ku nfuna y'obujjanjabi bw'ekirwadde kino.
Okusaba kuno kukoleddwa Akulira eddwaliro lye Nsaba, Dr. Andrew Ssekitooleko bwabadde omugenyi omukulu ku mukolo ekitongole ki Healthy Heart Foundation kwekitongolezza ekivvulu ekituumiddwa "Ettendo Worship Concert" ku Hotel Africana mu Kampala olwaleero.

Dr. Ssekitooleko , Rita Namyalo (mu lugoye olumyufu) nga bali mu kifananyi n'abakyala abalina abaana abatawanyizibwa obulwadde bw'Omutima
Ekivvulu kino kiruubirirwamu okusonderamu ssente ezinawa obuyambi eri abaana abazaalibwa n'obulwadde bw'ekituli ku mutima okubatwala ebweru okulongoosebwa ate n'okubalabirira nga bavuddeyo mu kulongoosebwa.
Dr. Ssekitooleko era nga mutumbuzi wa Kampeyini edduukirira abantu abakosebwa obulwadde bw'omutima bino, abadde Abakyala amagezi okulaba nga babeera mu bulamu obulungi mu kiseera nga bali mbuto nga beekezebwa endwadde ez'enjawulo zireme kukosa baana bano.
Ekitongole ki Healthy Heart Foundation ekirabirira abaana abatawanyizibwa obulwadde bw'omutima, kikulirwa Eyaliko Minisita wa Kabaka omubeezi ow'ebyobulambuzi, Rita Namyalo Waggwa era Ono alambuludde ku nteekateeka y'ekivvulu ekitegekeddwa nga March 27,2026 ku Hotel Africana mu Kampala, okufunira abaana obuyambi.

Abeetabye ku mukolo nga bawandiika ku kipande okutongoza Ettendo Worship Concert
Ekivvulu ekyo kyatandika omwaka oguwedde nga mwasonderwamu obukadde 32, Namyalo zaagambye nti zibayambye nnyo mu kulangirira abaana bwatyo n'akunga Bannayuganda saako n'ebitongole okuvaayo okutumbula nabo.
Emyaka ebiri egiyise ekitongole kino kyakatwala abaana 56 e Buyindi okulongoosebwa. Buli mwana yetaaga Ddoola za Amerika eziri wakati wa 5000 ne 7000