Poliisi e Luweero ekyagenda mu maaso n'okuyigga abantu abagambibwa okunyaga ebintu ebikozesebwa mu kulonda.
Akavuyo, kaabadde Wesune - Muto mu muluka gw 'e Nsanvu mu Ggombolola y'e Makulubita e Luweero, ekibinja ky'abantu nga batambulira mu takisi nnamba UBR 783D bwe bawambye ebikozesebwa mu kulonda okuva mmotoka Wish nnamba UBR 176Z mwe baabadde babitambuliza ,ne babulawo nabyo.
Abamu Ku baalumiziddwa, kuliko Charles Seruwu dereeva, David Kalegeya, Lawrence Bukenya n'abalala nga kuno kw'ogasse nabasirikale a baabadde bakuuma ekifo.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti abamu Ku balumbaganyi baategeerekese nga kuliko Ben Kamada, Among Mududda n'abalala.