Amawulire

Trump alaalise Iran okweraliikirira wadde batandise enteeseganya

TRUMP azzeemu okulabula Ayatollah omukambwe wa Iran nti, alina okubeera omweraliikirivu ennyo wadde ng’eggwanga lye ne America gagenda mu kuteesa.

Trump owa America
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

TRUMP azzeemu okulabula Ayatollah omukambwe wa Iran nti, alina okubeera omweraliikirivu ennyo wadde ng’eggwanga lye ne America gagenda mu kuteesa.
Amawulire ga CNN gaalaze Pulezidenti wa America, Donald Trump ng’akuutira Ayatollah Ali Khamenei okwongera okweraliikirira mu kifo ky’okusuula ennanga ng’alowooza nti, engeri okuteesa gye kutandise eby’olutalo biwedde.
Trump yamugambye nti, wadde bagenda kuteesa ku bya Iran okukomya okuweesa bbomu za nukiriya, wakyaliyo omusango gwa Gavumenti ya Ayatollah bwe yasse abaabadde beekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu erinnye. Kigambibwa nti abattiddwa basoba mu 5,000 ate abalala 800 bali mu makomera ate nga basuubirwa okuwanikibwa ku kalabba.
Ayatollah azze yeewaana nti ssinga Amerika ekoona ku Iran nga bwe yakola omwaka oguwedde, ku luno bagenda kuttunka. Iran yakiyise kutandika lutalo lugazi mu kitundu kyabwe n’egamba nti ejja kuzingiramu ne mukwano gwa Amerika; Yisirayiri.
Trump naye yakozesezza ebigambo ebikambwe nti, ‘I would say he should be very worried. Yeah, he should be,” nga bwe byawandiikiddwa NBC News ku Lwokusatu.
Okuteesa kutandika leero ku Lwokutaano mu kibuga kya Omani ekikulu Muscat nga kugenda kwetabamu ebikonge okuli ne minisita wa Iran ow’ensonga ez’ebweru, Abbas Araghchi. Ebikonge bya America kuliko Steve Witkoff n’abalala.
Trump yasindika dda emmundu ez’amaanyi mu liyanja lya Gulf of Oman okwetegekera olutalo lwa Iran.