Amawulire

Owa Phaneroo akooneddemu abayimbi ba Makoma

APOSTEL Grace Lubega owa Phaneroo akooneddemu abayimbi ba Makoma. Ba Makoma bayimba nnyimba za ddiini okuva e Congo era baatiikirivu nnyo olw’okukuba ennyimba ez’omwoyo ate nga zinyumira abantu mu nsi ez’enjawulo.

Apostle Lubega, Don Wanyama ne Lorraine Tukahirwa aba Vision Group.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

APOSTEL Grace Lubega owa Phaneroo akooneddemu abayimbi ba Makoma. Ba Makoma bayimba nnyimba za ddiini okuva e Congo era baatiikirivu nnyo olw’okukuba ennyimba ez’omwoyo ate nga zinyumira abantu mu nsi ez’enjawulo.
Bano baakujja e Uganda nga March 6, okusanyusa abadigize nga New Vision ejaguza emyaka 40 bukya etandikibwawo. Ekivvulu kino kyakubeera Kololo mu kisaawe.
Eggulo ku Lwokubiri, Don Innocent Wanyama akulira Vision Group ng’ali ne ttiimu ye, baakyaliddeko Apostle Lubega ku ofiisi e Ntinda mu Kampala era Apostle Lubega yasanyukidde ekya Vision Group okuleeta abayimbi ba Makoma n’ategeeza nti kusalawo kulungi okujaguza n’abayimbi abayimba ennyimba z’eddiini mu bijaguzo by’emyaka 40. Yakakasizza nti emyaka emirala egya New Vision gigenda kuba gya byengera.
Wanyama yeebazizza Lubega okumwaniriza n’okukwatagana nabo mu kumanyisa abantu ku kivvulu kino era n’asaba abantu okukijjumbira. Tikiti zitundibwa ku 50,000/-, 100,000/- ne 250,000