Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kizungu mu disitulikiti y'e Kyankwanzi, abazigu bwe batemyetemye ssemaka ne mukyala we ne babatta.
Ettemu libadde mu Kizungu Cell mu Ntunda town Council e Kyankwanzi, bwe basse Awali Sentongo 42 omulimi ne mukyala we Doreen Ayebare mu Kiro ekikeesezza leero.
Kigambibwa nti abatemu, ababadde n'ebiso, babalumbye ne basookera ku Awali ne bamutemaatema ebiso ku mutwe ne bamusala n'obulago oluvannyuma ne mukyala we ne bamufumita ebiso mu mbirizi naye n'afa ng'agezaako okudduka atuuke awali abantu be, mu mita nga 80 okuva awaka.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti mu nnyumba mubaddemu abaana babiri okuli ow'emyaka Ena era nga bombi basimattuse.
Agasseeko nti tabannamanya kigendererwa eky'ettemu lino era n'asaba oyo yenna alina amawulire, okutemya ku poliisi basobola okukwata abatemu