Amawulire

Dokita ali ku gwa kutta muganzi we

omukugu mu ndwadde z’abakyala asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa omusango gw’okutta muganzi we.

Adupet Abamu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

omukugu mu ndwadde z’abakyala asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa omusango gw’okutta muganzi we.
Dr. Martin Adupet, 43 ow’e Wantoni e Mukono yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu n’asomerwa omusango gw’okutta omuntu gwe yasanga mu maka ge e Kikaaya mu Kawempe. Kigambibwa nti, nga January 3 mu Zooni y'e Kikaaya mu munisipaali y’e Kawempe mu Kampala, mu bugenderevu Dr Adupet yatta muganzi we, omulambo n’aguleka mu nnyumba.
Omuwaabi wa Gavumenti, Mercy Yamangusho Khaidara asabye kkooti okubongerayo obudde okukola okunoonyereza era omulamuzi Aisu n’agwongezaayo okutuusa nga March 3, 2026. Amusindise Luzira.
Bya