MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja atabukidde abakozi ba minisitule gy’akulembera n’awera okubasiba olw’emivuyo egisusse mu nsonga z’ettaka.
Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FaMa abuli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yagambye nti, abakozi ba minisitule y’ebyettaka basusse okukola ebyapa ku ttaka lye bamanyidde ddala nti liriko ebyapa ebirala nga bafulumya special title. Bino bibeera byapa ebifulumizibwa ssinga nnannyini kyapa yeekubira enduulu mu boobuyinza n’alaga nti ekyasooka kyamubulako.
Kyokka bw’amala n’akiraba, olwo ekyafulumizibwa oluvannyuma kisazibwamu era kiba tekikyakola.
Aba minisitule balina okusooka okukola okunoonyereza ku kyapa ekyabula ne bakiwa n’obudde oluvannyuma lw’okulanga ne bakakasiza ddala nti tewali akirina. Kyokka olw’emivuyo egiri mu minisitule, basanga ettaka limu nga lirina ebyapa bibiri okuli ekya ‘original’ awamu ne ‘special.’
Okumanya obufere bususse, waliwo omusango gwe yafunako ng’abakozi ba minisitule baakyusa amannya agali ku kyapa ne bawandiikako amalala! Minisita agamba, akooye enkola y’okusazaamu ebyapa buli kaseera kyokka ne watabeerawo kikolebwa bakozi ba Gavumenti kuba be baba emabega w’emipango gyonna.
“Lumu nakola okunoonyereza ku bakozi ba ofiisi z’ebyettaka, ne nkizuula nga baliko gye baleka emmotoka ez’ebbeeyi ne batatuuka nazo ku mirimu olw’okutya okubategeera. Ababbi baviira ddala ku baddereeva kuba bonna baafuuka babbulooka ba ttaka,” bwe yagambye.
Ebbanga erisigaddeyo ng’akyali mu ofiisi, Mayanja yagambye nti, agenda kutandika okusiba abakozi ba minisitule kuba ssinga si be beekobaana n’abagagga, omuze gw’okutwala ebyapa by’abantu tegwandibaddewo.
Ng’oggyeeko okukwata abakozi, balowooza ne ku ky’okukyusa tekinologiya n’enkola y’emirimu, bateekewo enkola etesobozesa muntu yenna kukwata ku kyapa kya munne.
Embeera y’okujingirira ebyapa eviiriddeko ffamire nnyingi ezaali ziteredde, okufuuka emmomboze olw’okutwalibwako ettaka lyabwe kwe baabeeranga.
YEEBAZIZZA KKOOTI KU
TTAKA LY’E KAKUNYU
Minisita yeebazizza kkooti olw’okuwa ekiragiro ekigaana Dr. Apollo Kaggwa Lutaakome okuddamu okusaalimbira ku ttaka ly’e Kakunyu mu Wakiso ly’aludde ng’akaayanira n’abeebibanja.
Omulamuzi Dr. Grace Flavia Mburo ye yawadde ekiragiro ekigaana Dr. Kaggwa okuddamu okutaataaganya abasenze okuli; Lydia Nambogo n’abalala 11. Ekiragiro kyayise nga January 27, 2026. Mayanja yagambye nti ekiragiro kyalagidde Dr. Kaggwa aliyirire abasenze ssente ze batadde mu musango guno. Abantu b’e Kakunyu, Minisita yabasanyukiddeko n’agamba nti lino lye limu ku ttaka lye yatandikirako nga yaakalondebwa ku bwa minisita ng’ali wamu ne RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi.
N’akkaatiriza nti, Pulezidenti yawa ekiragiro nti tewali akkirizibwa kusengula bantu ne bw’aba n’ekiragiro kya kkooti, okuggyako ng’akakiiko k’ebyokwerinda aka disitulikiti kamaze okukkiriza oluvannyuma lw’okwebuuza ku minisita w’ebyettaka. Ekiragiro kino kyanywezebwa Ssemateeka wa Uganda owa 1995 mu nnyingo ya 237 (8), egaana okusengula omusenze yenna k’abe ng’ali ku ttaka kya mailo, liizi oba obwannannyini obulala