Amawulire

Ebigezo bya S4 ne S6 eby’Obusiraamu bifulumye

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku bigezo by’Obusiraamu aka National Examinations Committee for Idaad and Thanawi kafulumizza ebyava mu bigezo by’omwaka oguwedde, ne kalaga nti omuwendo gw’abayizi abasoma Obusiraamu gweyongedde.

Akulira akakiiko akatwala ebigezo by’Obusiraamu, Polof. Abdul Hafiz Walusimbi (owookusatu ku ddyo) ng’akwasa akulira IUIU, Polof. Ismail Simbwa Gyagenda ebyavudde mu bigezo. Owookubiri ku ddyo ye Dr.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku bigezo by’Obusiraamu aka National Examinations Committee for Idaad and Thanawi kafulumizza ebyava mu bigezo by’omwaka oguwedde, ne kalaga nti omuwendo gw’abayizi abasoma Obusiraamu gweyongedde.
Bwe yabadde asoma ebyava mu bigezo bino ku mukolo ogwabadde ku Islamic University in Uganda ku ttabi ery’e Kibuli, Dr. Hassan Kiyingi yagambye nti omuwendo gw’abayizi abaatuula ebigezo bino omwaka oguwedde ku mutendera gwa Idaad (S.4) baali 1153 kyokka abaatula mu 2024 baali 919 ekiraga nti beeyongeddeko.
Ku bayizi abo, 557 baayitidde mu ddaala lisooka, 307 lyakubiri, 147 lyakusatu ate 75 ne bayitira mu ly’okuna. Abayizi 41 baagudde ate 26 beewandiisa ne batalabikako.
Ate abaatuula ebigezo bino ku mutendera gwa Thanawi (S.6) baali 167 era ng’omuwendo guno gweyongeddeko bw’ogeraageranya n’abaatuula mu 2024 abaali 138. Ku bayizi bano, 88 baayitidde mu ddaala lisooka, 50 lyakubiri, 13 lyakusatu ate 7 ne bayitira mu lyokuna. Abayizi 2 baagudde ate 7 beewandiisa naye tebaatuula bigezo bino.
Dr. Kiyingi yategeezezza nti ebigezo by’abayizi 16 byakwatiddwa nga kirowoozebwa nti beenyigira mu kubba ebigezo. Yasabye abaddukanya amasomero g’abayizi bano okugenda mu kakiiko bannyonnyole.
Ssentebe w’olukiiko olutwala ebigezo bino mu ggwanga, Polof. Abdul Hafiz Walusimbi yabotodde ekyama nti okutandika n’omwaka guno, ebibuuzo bino tebigenda kukoma kutuulibwa mu Uganda yokka wabula n’abayizi okuva e Kenya bagenda kutandika okutuula ebigezo bye bimu.
Yasiimye minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo olw’okutambula nabo mu nteekateeka y’ebigezo bino n’asuubiza okukuuma omutindo.
Akulira yunivasite eno, Polof. Ismail Simbwa Gyagenda yalaze obukulu bw’okusomesa abaana eddiini n’asiima abazadde abatuukiriza obuvunaanyizibwa buno.
Zulaika Naiga eyakiikiridde minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo ku mukolo guno, yatenderezza omutindo gw’ebigezo bino ne beeyama nti minisitule yaakwongera okukolagana ne IUIU n’akakiiko akavunaanyizibwa ku bigezo bino era ng’ebbaluwa omuyizi gy’afuna ekkirizibwa mu mawanga gonna.