Amawulire

Katikkiro asabye Abavubi okwekebeza akawuka ka mukenenya

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubi mu Bizinga bye Buvuma okwekebeza Mukenenya bamanye bwebayimiridde, nga mu kino abasangibwa n’akawuka balina okutandikirawo eddagala, basigale nga batambuza emirimu gyabwe.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri abantu b'okumwalo gwe Kasaali
By: Agnes Kyotalengerire, Journalists @New Vision

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubi mu Bizinga bye Buvuma okwekebeza Mukenenya bamanye bwebayimiridde, nga mu kino abasangibwa n’akawuka balina okutandikirawo eddagala, basigale nga batambuza emirimu gyabwe.

Bwabadde atongoza enkola etuumiddwa Situla Omutindo nga eno ebbuluddwa mu Nteekateeka ya Mwanyi Terimba e Buvuma, Katikkiro asabye Abavubi okukozesa enkola zonna ezibatangira okufuna Mukenenya, omuli n’Okukozesa Obupiira bu Kalimpitawa.

“Ssinga mumira eddagala nga Abasawo bwebagamba n’Okwekebeza ne mumanya wemuyimiridde , emirimu gyammwe gyakugenda bukwakku”

Katikkiro mungeri eyenjawulo ababudde abavubi ku Banneekoleragyange “Bamalaaya” abeyongedde obungi ku myaalo nga ogwe Kasaali ogusangibwa mu gombolola ye Nairambi mu Buvuma, n'abasaba okwekuuma n’Obupiira bwebaba bakyayagala Obulamu.

Omwaami wa Kabaka akulembera Essaza Buvuma Mbuubi Mboowa Michael agambye nti alabudde abantu ba Kabaka abeebalama okwekebeza Mukenenya, nga kino bakikola olw’Okutya okubasekerera nga basangiddwa nabwo.

Mbuubi era ayogedde ku bimu ku bizibu abantu abandyaagadde okweekebeza Mukenenya byebasanga ku bizinga, Omuli okutambula engendo empanvu okugenda ku malwaliro.

Mbuubi mungeri yeemu asabye ekitongole ekirwaanyisa Mukenenya  ki Uganda AIDS Commission okwongera okuyambako mu kusomesa abantu Ebikwaata ku Mukenenya n’Okweekebeza n’Okusembereza bannansi Obujjanjabo.

Komisona mu kitongole ekirwaanyisa Mukenenya ki Uganda AIDs Commission Dr. Watiti Stephen nga ono yakawangaala ne Mukenenya kati okumala emyaaka 35, agambye nti omuwendo gw’Abantu abali ku ddagala eriweweeza Mukenenya mu Buvuma gukola ebitundu 77% guzzaamu essuubi, yadde nga abantu ebitundu 4.4% bebawangaala ne Mukenenya.

Dr Watiti asabye abantu ba Kabaka ebitundu 23 abatali ku ddagala kyokka nga balwadde ba Mukenenya balitandike, bawone okufa.

Watiti agasseeko nti ekiruubirirwa kyabwe kwekumalawo okusasaana kwa Mukenenya n’Obusosoze mu bakalina mu mwaaka 2030.

Ebiwandiiko biraga nti mu mwaaka 2024 Uganda yafuna abalwadde ba Mukenenya abapya 37000, yafiirwa abantu 20000 ku ndwadde ez'ekuusa ku Mukenenya, era nga abantu akakadde kamu n’Ekitundu (1.5m) bebaalina Akawuka ka Mukenenya.