Bya Aidah Nakazzi
Ministry y'ebyensimbi erabude abawi b'omusolo okwesiba bbiri kubanga ku mulundi guno baagala ekitongole ekiwooza ky'omusolo okukunganya trillion 41 nga zino zakufuilila mbalilira y'ebyensimbi 2026-27.
Bino bikakasiddwa Ali Tagole nga Ono okuva ministry yebyensimbi eranga ategeezezza embalirira yo kuluno esuubirwa okuba obusse 72.44 trillions .
Ono agamba nti zino okusinga baakuziggya mu kitongole kya URA , nga URA yakukunganyako 41 trillion saako namaguta agasubirwa okuleeta ensimbi eziwera 1.4 trillions saako nebilala .
Ono bino abyogerede mu nsisiskano gyebabademu ne bibiina byobwanakyewa nga bakubaganya ebirowoozo ku butya embalalilila y'omwkaa 2026 -27 wenabeera.
Wano Munkunda Julius okuva mu kibiina ki csbug basabye gavumenti eggyewo supplementary budget olw'ensonga ensimbi ezivaamu ebiseera ebisinga tezikola ebyo byezilina kukola.
Ono agamba nti enfunda nnyingi ensimbi ezifulumizibwa mu supplementary budget zikomekeleza munsanwo za bantu ekintu ekyonona ensimbi zomuwi w'omusolo.
Munkunda era awabude gavumenti okukendeeza oba okubaawo sente zeteeka mu bintu ebitazza magoba wabula baziteeka mu bintu ebiganyulwa abangi omuli engudo,amasomero amalwaliiro saako ne bilala.
Ono era ategezezza nga bwebakizude nti amaanyi ga parliament mukusalawo ensonga zokukola ku project z egwanga mubudde nemusente eziba ziteredwawo kikyabalemye nga bulikade babera mukuyisaawo supplementary budget ekintu ekikosa omuwi womusolo.
Ankunda era annyonnyodde nga n'ensimbi Uganda zesasula mu fines nazzo mbitilivu nga zivva mukulwawo okumala project ezibeera zitadise okukolebwa nga olugudo olwatandika nga lwabuwumbi 100 lugwera mubuwumbi 200 olwa fines