Amawulire

IRAN-Yeegezezzaamu engeri gy’eneetaasa ku America

IRAN-Yeegezezzaamu engeri gy’eneetaasa ku America

IRAN-Yeegezezzaamu engeri gy’eneetaasa ku America
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

IRAN eyiye ebyokulwanyisa n’eggala akagolomolo akayitamu emmeeri z’ebyamaguzi  by’ensi yonna nga yegezaamu mu lutalo lwe yeetegekera ku America.
Akatundu akayitibwa Strait of Hormuz akali ku nsalo ya Iran, ke kagatta amawanga agasinga okusima amafuta era emmeeri zaago we ziyita n’ebyobusuubuzi ebirala ebiva
mu mawanga g’abazungu, Asia, Africa n’awalala.

Iran yewera dda okukaggala singa America etandika olutalo nga bw’ezze esuubiza ng’eyiwa ebyokulwanyisa byayo okuli emmeeri ez’amaanyi mu gayanja okuli Arabian Sea, Gulf of Oman, erya Buyindi ne Mediterranean nga bwe kiri kati ng’emmeeri ya USS Gerald Ford egambibwa nti evudde mu liyanja lya Caribbean gye yali egenze okukola ku bya Venezuela kati ezze ku bya Iran. Akatundu ako kaggaddwa ku Lwokubiri ng’eggye lya Iran lyegezaamu mu by’olutalo omwabadde okukuba mizayiro, ebikompola, amasasi na buli kyakulwanyisa ekyabaddewo kyakozeseddwa nga bwe kisuubirwa okukozesebwa ng’olutalo lutandise.
Okulagira ekyo, omukambwe wa Iran, Ayatollah Ali Khamenei yayagadde kukakasa bazungu nti alina amaanyi mu by’amagye gattako okujjukiza nga bw’ajja okulagira okuggala akatundu ako kirinnyise ebbeeyi  y’ebintu mu nsi yonna naddala amafuta ne ggaasi nga bye bisinga okuyitawo. Agamu ku mawanga agasinga okusima amafuta okuli Saudi Arabia, Iraq, Kuwait, United Arab Emirates n’amalala awo we gasinga okuyisa emmeeri z’amafuta gaazo ge gatunda mu bazungu n’amawanga amalala.
Ebimu ku by’okulwanyisa ebyakozeseddwa okwegezaamu kwabaddeko mizayiro ezikuba okumpimpi, obwato obuwenyuka, amaato amanene, ennyonyi za drone ezeevuga zokka, lubbira n’ebirala abaakoze okwegezaamu kuno bye bataayatudde