ABALIMI b’ebikajjo e Namayingo ge bakaaba ge bakomba olw’okubulwa agula ebikajjo byabwe ebituuse okukamulwamu ssukaali.
Obuzibu bwavudde ku bannakigwanyizi abaalemesezza ekkolero lya ssukaali eppya erya CN Sugar Factory okufuna layisinsi erikkiriza okukamula ssukaali. W’osomera bino ng’okuzimba ekkolero lino kwayimirizibwa dda!
Abalimi baasinzidde mu lukiiko lwabwe e Kifuyo mu disitulikiti y’e Namayingo ku Lwokutaano ne bategeeza nti baakola endagaano n’ekkolero lya CN Sugar emyaka ebiri emabega okuliguza ebikajjo byabwe. Kati tebakkirizibwa kubiguza kkolero ddala.
Baagambye nti, bannaabwe beewola mu bbanka, okutegeka ennimiro zaabwe n’okupangisa we balimira ebikajjo kyokka bituuse okukungulwa nga tebasobola kubitunda. Ebimu bitandise okukalira mu ssamba ate ebirala bikumwako omuliro abantu abatannamanyika.
Ne bagattako nti, bbanka zitandise okubabanja nga bwe zitiisa okutwala ebintu byabwe omuli ettaka n’amayumba.
Olukiiko lwetabiddwaamu ne RDC w’e Namayingo, Eva Kwesiga eyasuubizza okukola ekiwandiiko nnamutaayiika asengeke ensonga z’abalimi akitwalire Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja abasalire amagezi. Kwesiga yagambye nti, ensonga zino ziri mu maaso g’akakiiko ka National Sugar Council nga zitunulwamu era essaawa yonna akakiiko kaakulaga okusalawo kwako.
Kinajjukirwa nti, omumyuka wa Katikkiro wa Uganda owookusatu, Rukia Isanga Nakadama yakiikirira omumyuka wa Pulezidenti, Jessica Alupo nga August 9, 2024 okutema evvuunike ku kyalo Kifuyo mu ggombolola y’e Buyinja mu disitulikiti y’e Namayingo okutandika okuzimba ekkolero lya CN Sugar Limited