Amawulire

Nsalessale ku bakolera ku nguudo wa leero

NG'EBULA ennaku mbale okutuuka ku mwooleso ogwe kkumi ogwa Harvest money Expo, leero bonna abagenda okwolesa,basisinkanye okubamanyisa nga bwe gugenda okutambula.

Abatembeeyi abayiye emmaali mu lumu ku nguudo z’omu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASUUBUZI abayiwa emmaali ku nguudo ne ku mbalaza z’ebizimbe bagobeddwa.
KCCA ekung’aanyizza ebibinja by’abaserikale abakwasisa amateeka n’abamu ku bambega okuva mu bitongole bya Gavumenti ebikuumaddembe bakwate abagenda okulemerawo.
Ennaku 14, KCCA ze yabawa okwamuka ebifo byonna ebimenya amateeka ziweddeko era abaserikale ku City Hall basuze bulindaala okwezza enguudo zonna ezibadde ziwambiddwa nga bazijjuzaako ebyamaguzi.
Eggulo, aba KCCA baasibye basomesa basuubuzi buli akolera mu kifo ekikyamu mu kibuga akyamuke. Baabalagidde baddeyo mu butale, mu akeedi ne mu bifo byabwe gye baali bakolera.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abiine yategeezezza nti ebikwekweto bigenda kutandika ku ssaawa mukaaga zennyini ez’ekiro ekikeesa ku Lwokuna. “Olwa Febuary 18 lugenda kuggwaako ku ssaawa mukaaga ez’ekiro. Tetugenda kuyisaamu wadde eddakiika kuba buli ali ku luguudo akimanyi nti akolerawo mu bukyamu ate yalabulwa dda bonna baveeko,” Nuwe Abiine bwe yagambye.
Yategeezezza nti sizoni bagikoze kati kiseera kya kutereeza kibuga. Yagasseeko nti, “Awamu tugenda kusimbawo bimuli ate awalala tulongooseewo n’okutereereza bannannyini maduuka abamaze ebbanga nga banyigirizibwa nabo bafune ku buweerero.”
Mmeeya wa Kampala CentralSalim Uhuru yagambye nti abakolera mu maduuka bamaze ebbanga nga banyigirizibwa era baaloopa ne KCCA ewa katikkiro wa Uganda nga balabula nti tebagenda kusasula layisinsi za maduuka mu kibuga ate ne bannannyini bizimbe ne balabula nti tebagenda kusasula busuulu bwa KCCA lwa kuyiwa byamaguzi ku nguudo.
Uhuru yalagidde nti takkiriza muntu yenna kusigala ku luguudo kuba kimenya mateeka era kizzizza ekibuga emabega. “Tosobola kutambula kuva ku Mutaasa kutuuka ku Namirembe Road mu budde nti ogula bintu olw’akavuyo akeetabiseemu abasazi b’ensawo,” Uhuru bwe yagambye.
Yasuubizza nti agenda kufuba okulaba nti abatalina we bakolera bafuna ebifo mu butale n’okulaba nti akatale k’omu luguudo ku Ssande kaddawo. Yamenye enguudo ezikwatiriddeko abakolerako mu bukyamu okuli; Ben Kiwanuka, Ssebaana Road, Allen Road, Namirembe Road, Luwum Street, William, Market Street, Johnson Street, Wilson Street ne Kampala Road.
Abamu ku basuubuzi babadde batandise n’okuyiwa muwogo, emboga, mukene ssaako okusiikira emmamba ku nguudo nga Luwum Street. Ate bwe kituuka ku Paaka Empya ne Enkadde, bingi mwe biri okuli n’essigiri ezifumba ekigere n’okwokya enkoko. Abakulembeze b’ebibiina by’abasuubuzi bawagidde KCCA eyanguye okugoba abakolera ku nguudo kuba emirimu gy’abasuubuzi bagisudde.
Ssentebe w’ekibiina kya NETA, Thadeus Musoke yagambye nti babadde bateekateeka kutwala KCCA mu kkooti ewalirizibwe okugoba abakolera ku nguudo kuba embeera gye bakoleramu mbinnyo. “Bannannyini maduuka be basasula emisolo okuli egya URA, layisinsi ate n’abagagga bannannyini bizimbe be basasula busuulu kyokka nabo tebakyayingiza,” Musoke bwe yagambye.
Yagasseeko nti ensonga y’abakolera ku nguudo baagiroopa dda mu KCCA nga beemulugunya nti eremeddwa okussibwa mu nkola ng’abasinga ku basuubuzi abakolera mu maduuka banyigirizibwa ate nga basasula omusolo.
Ssentebe w’abakolera ku nguudo Joseph Kagolo yagambye nti, kituufu ekibuga kibadde kifuuse katale olw’abamu ku basuubuzi abanene bannannyini maduuka okufulumya emmaali nabo ne bagiyiwa ku nguudo ate nga balina amaduuka ne ssente nnyingi ze bakozesa.
Kyokka abakolera ku nguudo baasabye KCCA nti esabe abagagga babafunire emyaliiro ku bizimbewaggulu bakoleremu okusinga okubasindiikiriza kubanga waliwo abamu ku bannaabwe abatalina ssente zipangisa bifo.
Wabula KCCA yalaze nti erina ebifo ebikalu ebisoba mu 2,000 mu butale bwayo n’eragira abatalina we bakolera bagendeyo babisabe. Obumu ku butale kuliko aka USAFI akasingamu ebifo, aka Wandegeya, Nakawa, Bugoloobi n’obulala.
Oluvannyuma lw’okugoba abakolera ku nguudo, Nuwe Abiine yagambye nti bagenda kuddako okutereeza entambula ya bodaboda nga batereeza siteegi mu kibuga okukakasa nti buli omu akolera mu mateeka. Yalagidde nti omulimu gwa bodaboda baagutandikako dda naye gwetaaga kutereezaamu katono