Abantu abawera 2000 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala n'ebitundu ebirala mu wiiki emu.
Ebikwekweto bino, bibadde wakati w'ennaku z'omwezi 16 okutuuka 22 omwezi guno era nga bikoleddwa mu Kampala, Luweero, Wakiso, Mukono, Ggulu, Aswar, East Kyoga, Elegu n'awalala.
Mu Kampala mwokka, abawera 700 be bayoleddwa, mu Aswer West 184, West Nile 14, Savanna 102, East Kyoga 27 Elegu 19 n'awalala.
Kidiridde okwemulugunya kw'abasuubuzi, abatuuze, abasaabaze n'abantu ssekinnoomu, ku bumenyi bw'amateeka obweyongedde mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti e Ggulu baazudde kaada z'amasimu 30 wamu n'ebintu ebirala.
Agasseeko nti mulimu abamenyi b'amateeka be baludde nga bayigga babazudde, kuno kwossa enjaga, ebintu e bigambibwa okuba ebibbe n'ebyuma by'emmotoka ebibbe.
Ayongeddeko nti ebikwekweto bino, bikyagendera ddala mu maaso okulwanyisa obumenyi bw'amateeka