Bya Frank Ssentongo
Ronald Mugisha amanyidwa ennyo nga Ronnie Guns, y’omu ku bantu abayatiikirira mu kisaawe ky’okutunga ebyambalo okusingira ddala eby'abayimbi mu Uganda mu mwaka gwa 2007.
“Police yankwata ku misango egy'ekuusa ku kutta omuntu mu 2003 era ne bansiba okumala emyaka 4; Mu kkomera nasomera yo emirimu ebiri okuli; okutunga ssaako n’okuwandika ku birabo nga mbitonatona….” Ronnie Guns bwategeezezza ng'anyumya olugendo lwe

Nga 1
Ronnie Guns agamba yanyonnyodde Bukedde nti omulimu gw'okutona gwa muwa ettutumu bwe yali nga akyali mu Komera; Era abasibe bamutonera ebirabo okuli; sukaali, engano, ensimbi enkalu ne birabo ebilala.
“ Bwe nnali mu komera; nabamgulwa mu kukola ssaako n’okutunga eby'ambalo ssaako; era natunga ebyambalo ebyatwalibwa mu ‘show rooms’ z’ amakomera; ssaako n’okufunza ebyambalo bya abasirikare mu komera.
Ono yeyakola ebyambalo ku bivulu bino wa mmanga; Ekya Kabuye Ssemboga, Ekya ‘Memories of Goodlyfe ( 2024), Kabuye Ssemboga Live in Concert (2025), Obudde Concert ( 2013); ssaako ne byambalo bya video okuli; Kisasi kimu eya Sheebah Karungi; Njala nyimbire omutanda eya Mesach Ssemakula n'endala.

RONNIE GUNS ATANDIKA ATYA OKUTUNGA
“Nalina ekirooto ky’okuyimba okuva obuto naye nga njagala nyambale nga Micheal Jackson naye nga abatunzi ba Uganda tebasobola kubitunga. Mu 2003, mu S.2 nga nsomera ku Nile College Komamboga natandikiriza okutunga nga newola ekyalaani ku 2000/-
Ayongera okunyonyola nti mu mwaka gwa 2007 bwe yava e Luzira yagenda mu maaso n’okuyiriba okuyimba wabula buli eyalaba ku byambalo ya byegomba era manager w’ekibbina ky’abayimbi ssaako n’okutunga ebyambalobye era lumu aba ava ku bbaala emu ku Kampala road emanyidwa nga Top Pub n'asisikana ne manager wa Pavikon Dancers n'amusaba atungire abayimbi be omukaaga ebyambalo;
“ Sente manager Nakiyingi yampa omulimu gwange ogw'asooka, era amagoba ge naggyamu nagongera mu business yange nayongera ku material era n’epeza costumes ze natambula nga nazo” Ronnie Guns anyonyola
Mu mwezi gw’o mwenda; Ronnie guns agamba yatandka edduuka era yasanuka nnyo nti ekilooto ky’okuzimba office kyali kitukiridde

Ronnie Guns ng'alag egimu kubmirimu gye
BYAFUNYEMU OMUMULIMU GW’OKUTUNGA
OKutandikira ddala mu kkomera e Luzira Ronnie Guns agamba nti okufuna mu bitone; okutunga, n’okutonatona ebintu nga ebikopo okuva mu basibe n’abasirikale; Wabula kyasukka weyafuluma era byabala bingi mu Kitone kye.
Ronnie agamba nti; azimbye ennyumba ye, azimbidde maama we ennyumba galikwoleka ku Gayaza road ssaako n’okuwerera abaana; Ate nti kiyitiridde nnyo mu bayimbi; anti waliwo abajja nga bibalemeredde mu batunzi abalala ne bajja ewuwe.
“ Nfuna okusomozebwa nga omuntu azze ayagala mutungire olugoye mu lunaku lumu; abasinga baba bawa oda abatunzi ne bibalema era ba kasitooma ne baddukira wano ewange” Ronnie annyonyora.
Ronnie agamba nti;olw’obwesiga, n'obuteweeza asobodde okola emikwano egiwera okusingira ddala abayimbi abanene mu gwanga okuli; Jose Chameleone, Radio and Weasel, Dj Michael ala kyamukolera akatale mu bayimbi abato, Sheebah Karungi, Queen Bella n’abalala.
“Good life nabatungira ebyambalo bya Obudde Concert, Kabuye Ssemboga live in Concert namutungira ebyambalo bye, Memories of Good life n’ebirala bingi nnyo; nkoledde abantu abingi engoye era kati sibal..” Ronnie Guns Ayongera okunyonyola.

Nga 1
EBIZIBU BYASANGA MU MULIMU GW’OKUTUNGA
Ronnie Guns agamba abayimbi okubba engoye ze kye kisomoozo kyasinga okusanga; nti n'abasinga abawamu mu ngoye ze okwambals bakomekereza bagenze nazo ate nebatamusasula.
“ Abayimbi nga bagenda okuyimba kubivvulu ebiseera ebisings ayinza okunsaba yageze mu lugoye; bwalinnya ku stage ayitamu buyisi; ogenda omukubira nga kugamba nti abadde ne abamubanja bangi era aduse abeware..”. Ronnie Guns anyonyola
Ayongerako nti okumusuulako emirimu ku lunaku olusembayo ku mikolo nakyo nimufukidde ekisomoza ekirara; agamba nti kyandi badde kikulu omuntu muwe omulimu, ekitono ennyo enku 5 afune obudde obunonya byakozesa.
Ronnie Guns y’omu kubatuzi mu Uganda abakoze elinnya mu kutunga engoye nga batungira abayimbi abanene saako n’abatono nga atunga ebyambalo bya Choir, School Uniforms saako ne bya bayimbi.