Poliisi e Masaka eyigga omukazi agambibwa okufumita bbaawe ekiso n'amutta bwe bafunye obutakkaanya awaka.
Attiddwa ye Vincent Mirembe 38 ow’oku kyalo Mizinga mu Kitengeesa ward mu Nyendo - Mukungwe mu diviizoni y’e Masaka.
Abadde avugira bodaboda ku stage ya Agip mu Kibuga Masaka era nga kigambibwa nti mukyala we olumaze okukola ekikolwa kino n'abulawo.
Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye, agambye nti, mwannyina w'omugenzi Ritah Nakiruuta ye yatemezza ku baffamire abalala ne poliisi, Vincent n'atwalibwa mu ddwaaliro e Masaka gy'afiiridde.
Agasseeko nti omulambo bagwekebezze ne baguwa abeng’anda okuziika ng'omuyiggo gw'omukyala agambibwa okumufumita ekiso, gugenda mu maaso.