POLIISI e Sironko eyigga ddereeva wa FUSO agambibwa okukoona abantu babiri ku pikipiki n'abatta.
Akabenje kagudde ku lutindo lwa Nalugugu Bridge, ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tororo, Fuso nnamba UAQ 492L bw'etomedde ppikippiki nnamba UFV 410H ng'egiva emabega abagibaddeko bombi ne bafa.
Abafudde, kuliko Rogers Nambale 35 omutuuze w'e Namisuni e Bulambuli ng'abadde musaabaze ku pikipiki eno , n'omulala abadde agivuga atannategeerekeka bimukwatako.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti bw'amaze okutomera abantu bano ate era n'atomera n'emmotoka nnamba UA 859 DD ebadde eva ku ludda lw'e Bulambuli n'eyonooneka byansusso.
Ategeezezza nti oluvannyuma lw'akabenje , ddereeva wa FUSO abuzeewo era nga bali mu kumunoonya ,nga ggyo emirembo giri mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale.