Amawulire

Poliisi eggalidde abantu 430

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto okufuuza abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka mu kaweefube waayo ow’okutebenkeza ebitundu.

Abaserikale ku poliisi ya Old Kampala nga bakuuma abamu ku baayoleddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto okufuuza abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka mu kaweefube waayo ow’okutebenkeza ebitundu.
Mu bikwekweto ebyakoleddwa poliisi ez'enjawulo mu Kampala n’emiriraano ku Lwokubiri ekiro ne ku Lwokusatu emisana, abantu 436 be baakwatiddwa ne baggalirwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, okukola ebikwekweto bino kigendereddwaamu okulwanyisa obubinja bw’abamenyi b’amateeka obususse okutigomya abantu.
Yagambye nti ku Lwokusatu emisana, poliisi ya CPS yakoze ekikwekweto ku kibangirizi ky’eggaali y’omukka, ku bitaala bya Jinja Road, awaali ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda ne ku nkulungo ya Mukwano n’ebibangirizi ebirala mwe baakwatidde abateeberezebwa okwenyigira mu bubbi.
Yategeezezza nti okukola ekikweketo kino, poliisi yakizudde ng’abamu ku bamenyi b’amateeka bwe beebaka mu bibangirizi oluvannyuma lw’okutigomya abantu era baakutte 55.
Yagambye nti, mu bikwekweto ebirala ebyakoleddwa poliisi y’e Kira e Mulawa, Najjeera, Kamwanyi baakutte 81, poliisi ya Kira Road yakutte abantu 49 okuva e Kamwokya, Kisaasi ne Kyebando.
Poliisi ya Old Kampala mu Kisenyi yakutteyo abantu 152 ate eya Jinja Road yakutte 20, ey’e Nansana yakutte 48 ne poliisi e Wakiso yakutte 23 n’abalala abaakwatiddwa poliisi endala