Omwoleso gw'ebyobulimu ogusinga obunene mu ggwanga gutandise leero mu kisaawe e Kololo. Guno gwetabiddwaako aboolesi abasukka mu 1000 era ogw'omwaka guno gwa njawulo kubanga olwaleero lwe giweze emyaka 10 bukyanga guggulwawo mu 2016.

Ebimu ku bibala bye balima.
Mu bazze okwolesa olwaleero mwe muli mwana muwala Mona Lisa Mbabazi nnannyini nnasale za Mona's Orchard fruit nursery ezisangibwa e Kabunza, mu matugga, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo y’omu ku boolesi abazze mu Harvest Money e Kololo.
Bano balina ebibala mu nnasale zaabwe okuli ; Dragon fruit , Noni, Apples, Coconut, emicungwa egiva ebweru egimanyiddwa nga Pixie Oranges, n’ebirala bingi.

Mbabazi ng'alaga dragon fruit eziyiza kkansa ne ssukaali
Mbabazi yategeezeeza nti ekibala kya Dragon kiyambako okuziyiza endwadde nga kkansa ne ssukaali ate nga kiriirwawo nga kyakakungulwa.
Ensingo ze balina zitandikira ku 10,000/= okusinziira ku kika ky’ekibala ky’ogula.
Omwoleso gw’ebyobulimi guno gutandise lwaleero ku Lwokutaano nga February 27 era gusuubirwa okukomekkerezebwa ku ssande nga March 1,2026