Amawulire

Kkampuni 100 ze zigenda okwolesereza mu ‘Dutch Village’

KKAMPUNI, abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga n’ebitongole ebisoba mu 100 bye bigenda okwolesa mu kibanja kya Budaaki (Dutch Village) mu mwoleso gwa Harvest Money

Quispel (ku kkono) ng’akwasa Julius Bigabwa ne mukyala we abamu ku bawanguzi b’empaka z’omulimi asinga ekirabo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KKAMPUNI, abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga n’ebitongole ebisoba mu 100 bye bigenda okwolesa mu kibanja kya Budaaki (Dutch Village) mu mwoleso gwa Harvest Money.
Omubaka wa Budaaki mu Uganda, Frederieke Quispel agamba nti kkampuni zino ziviira ddala Budaaki, eza kuno nga zirina enkolagana ne Budaaki kwossa abawanguzi b’empaka zino eb’emyaka gyonna. Omwoleso gwa Harvest Money ogutegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda nga gwakubeerawo okuva nga February 27 - March 1, 2026 ku kisaawe e Kololo nga gwakukuleetera abantu bonna abaliko kye bakola mu bulunzi n’obulimi.
Ogw’omwaka guno gusasuliddwa kkampuni ya Tunga Nutrition, Engineering Solutions
(ENGSOL), Pearl Bank, Uganda Development Corporation ne aBi Development. Okuyingira omwoleso guno osasula 10,000/- ate n’okwetaba mu misomo eginaategekebwa buli lunaku osasula 10,000/- olunaku.
Quispel agamba nti abagenda okwoleso baakulaga ebintu eby’enjawulo okutandikira ku tekinologiya akozesebwa mu bulimi n’obulunzi, okutandikira ku nsigo ennongooseemu, ebijimusa, ebyuma ebigatta ku mutindo okutuuka ku butale.
“Abalimi n’abalunzi abaawangula empaka z’Omulimi Asinga ne bagenda e Budaaki nabo baakwolesa n’okwogera n’okuwa abaagala okuzeetabamu amagezi bawangule ate n’okuyamba bizinensi ezikola amagoba okusinziira ku ngeri bo gye bakikolamu,”
bw’agamba.
Quispel agamba nti nga Budaaki nsi ntono ddala okusinga Uganda ate nga terina mbeera
ya budde nnungi, sizoni ebbiri, ettaka ejjimu n’ebirala kyokka ekwata kyakubiri mu nsi yonna okufuna mu bulimi n’obulunzi. Uganda esobola okufuuka eggwanga erisinga okufulumya ebiva mu bulimi n’obulunzi mu Africa singa Bannayuganda banaatandika okubikola nga bizinensi.
Nga omwaka oguwedde, Quispel agamba nti baakuwa ebirabo eri aboolesi mu kibangirizi kyabwe ‘Dutch Village’ abanaasinga okukwata ku bavubuka, obuyiiya ate n’okugatta omutindo ku bye bakola nga babasiima n’okusikiriza abalala. Fiona Tamale,n akulira eby’ebivvulu mu Vision Group agamba nti nga abategesi, baakuwa aboolesi ababadde n’omwoleso guno okumala ebbanga ebirabo nga emu ku ngeri y’okujaguza emyaka 10 egy’omwoleso. Quispel ayita buli alina bizinensi n’abaagala okutandika ezitambulira ku bulimi n’obulunzi okweyiwa mu bungi mu mwoleso guno kuba eby’okuyiga ntoko.