Amawulire

Ekiri e Kololo ku kisaawe mu mwoleso gwa Harvest Money

Abantu ab’enjawulo, bakyagenda mu maaso n'okweyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso gwa Haverst money Expo ogw’omulundi ogw’ekkumi.

Ekiri e Kololo ku kisaawe mu mwoleso gwa Harvest Money
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu ab’enjawulo, bakyagenda mu maaso n'okweyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso gwa Haverst money Expo ogw’omulundi ogw’ekkumi.

Ono yazze kwolesa ebibala omuli emicungwa emizungi ne dragon fruit eziziyiza kkansa ne ssukaali

Ono yazze kwolesa ebibala omuli emicungwa emizungi ne dragon fruit eziziyiza kkansa ne ssukaali

Okutendekebwa nakwo kwatandise dda mu bintu eby'enjawulo omuli okulunda embizzi, okulima emmwaanyi, okulima obutunda, okulunda enkoko, obumyu n'ebirala.

Amapeera ag'omulembe nago gasange mu mwoleso

Amapeera ag'omulembe nago gasange mu mwoleso

Abamu ku bazze okwolesa, bagambye nti entandikwa y'omwoleso guno ogw’ennaku essatu  ebadde nnungi era ne bakoowoola abantu okujja mu bungi okugwetabamu n'okubagulako.

Enteekateeka nga bwe zaabadde eggulo nga bategeka ekisaawe

Enteekateeka nga bwe zaabadde eggulo nga bategeka ekisaawe

Okuyingira mu mwoleso guno, osasula shs. 10,000/ n'okutendekebwa nakwo osasula 10,000/ ate abayizi bo basasula 7,000/=

Tags:
Harvest Money
Expo 2026
Amawulire
Kisaawe
Kololo