Amawulire

Abagambibwa okubeera mu kabinja k'ababbi ba Piki-Piki Poliisi ebakutte

Akabinja k'abantu abagambibwa okuba ababbi ba pikipiki n'okuzeeyambisa okubbirako, poliisi ekaabuluzzaamu bw'ekutte basatu abagambibwa nti baludde nga bakakulira. 

Piki-Piki
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Akabinja k'abantu abagambibwa okuba ababbi ba pikipiki n'okuzeeyambisa okubbirako, poliisi ekaabuluzzaamu bw'ekutte basatu abagambibwa nti baludde nga bakakulira. 

Mu kikwekweto kino ekikoleddwa e Nakulabye, Bukesa, ne Old Kampala era baliko pikipiki 10 ezizuuliddwa nga zigambibwa okuba enzibe nga n'endala bazeeyambisa mu kubba. 

Abakwatiddwa, kidiridde okufumbikiriza Equiam Ssessanga n'ebijambiya, ne bamunyagako pikipiki ye nnamba UMA 191 DV Bajaja boxer kwe kubalondoola, poliisi n'ebwakata. 

Mu kubakunya kigambibwa nti bakkirizza okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki, okubba amasimu, okumenya amayumba n'okuteega abantu. 

Mu zimu ku pikipiki zebabakutte nazo kuliko, UDH 516H, UGB  248V, UEV 046C, UDH 746H, UDK 657F, UDN 001C n'endala okutali nnamba. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti omuyiggo gw'abalala gugenda mu maaso.