Amawulire

Ebirwaza amannyo ne by’okola okugakuuma nga malamu

SSAALONGO Bonny Mawejje, 50, omutuuze w’e Bunono mu Katabi Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso yali talumwanga ku mannyo okutuusa lwe yaluma eggumba mu nnyama erinnyo lye erimu ku magego ne limenyeka.

Dr. Alfred Zzimbe, okuva ku Makerere University Hospital ng’akola ku linnyo ly’omulwadde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SSAALONGO Bonny Mawejje, 50, omutuuze w’e Bunono mu Katabi Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso yali talumwanga ku mannyo okutuusa lwe yaluma eggumba mu nnyama erinnyo lye erimu ku magego ne limenyeka.
Yafuna eddagala erisenya eryamukkakkanyaako n’alowooza nti, ateredde. “Wabula oluvannyuma lyasitula buto ne liddamu okunnuma era nga mpulira limyansa, sisobola kugaaya kikaluba ku ludda erinnyo kwe liri, okutuusa lwe nagenda mu ddwaaliro ne balissaamu sseminti.
Wabula mu kiseera kino sseminti yakunkumuse era obulumi bukomyewo,” Mawejje bwe yagambye.
EBIRWAZA AMANNYO
Dr. Frank Kayanja, omusawo w’amannyo ku Entebbe Central Clinic e Ntebe annyonnyola nti, ebyokulya n’okunywa ebiwoomerera abantu bye twettanira bye bimu ku bisinga okuvaako amannyo gaffe okulwala olwa ssukaali omukolerere abibeeramu awamu n’endabirira yaago.
Abantu abasinga balowooza nti, amannyo galina akawuka akagalya, naye erinnyo bwe livunda, by’olya bye bibeera birireetedde ekyo kubanga ebimu bisigala mu mannyo singa tosenya bulungi.
Obuwuka obubeera mu kamwa bwe bulya emmere eno buzaala asidi ng’ono y’ayokya erinnyo ne ligenda nga linafuwa n’okumenyekamenyeka ekivaamu kulumizibwa ng’obucaafu butuuse ku misuwa gy’erinnyo. Dr. Kayanja agamba nti, teri ddagala ly’oweebwa kunyumunguza mu kamwa liggyamu akawuka akalwaza erinnyo, wabula okusenya kwe kutangira okulwala amannyo. Waakiri mu lunaku senya emirundi ebiri naddala ekiro ng’ogenda okwebaka, kubanga obuwuka obwo businga kukolera mu mbeera nga tebufuna mukka gwa oxygen okwawukana n’emisana lw’obeera oyogera.
OBUJJANJABI BW’ERINNYO
 Dr. Kayanja agamba nti, si kirungi muntu okuggyamu amannyo ge wabula obujjanjabi obuso okakugasenya. Amannyo bwe gafunamu engeri yonna, genda ew’omusawo omukugu agakebereko akulung’amye okusinziira ku ddaala lye gabeera gasangiddwaamu.
 Omutendera ogusooka gwa sseminti, kyokka bwe kiba tekikyasobola olwo ng’odda ku lya kutta busuwa. Kyokka si buli kituli ekibeera ku linnyo nti, kyetaaga kuteekamu sseminti.
Abamu bagenda ew’omusawo ng’akamwa kavaamu olusu, ebibuno nga bivaamu omusaayi n’amannyo okubeera amanafu nga bw’ogenda mu bakugu basobolan okukuwabula nga tosoose kulowooza ku kya kuggyamu linnyo lyo. 

 Agamu geetaaga kwozebwako naddala abalina ebibuno ebivaamu omusaayi, akamwa akavaamu olusu n’ebirala nga okuggyamu erinnyo bwe bujjanjabi obulina okusembayo.  Bw’oba osenya kikulu n’okozesa akasenya akagonda okwewala
okukosa ebibuno n’okugasannyalaza. Senya ng’otandikira ku mannyo agali waggulu agasembayo okusobozesa akasenya okutuukako mu kibuno okuggyayo emmere eri mu kibuno ne mu mannyo oluvannyuma osenye aga wansi.
 Weewale okusokooza amannyo go obuti kubanga bukosa ebibuno n’okunafuya amannyo. 

Kebera ku mannyo emirundi ebiri buli mwaka 

Dr. Immaculate Namyalo, okuva e Mulago ategeeza nti, okusannyalala kw’erinnyo kubeerawo singa empewo ekuyingira mu kamwa oba n’onywa ekintu ekyokya oba
ekinnyogoga n’owuliramu okunyeenyera kw’amannyo ng’ekitundu  ky’erinnyo eky’omunda ddala kirabika mu kamwa.
Dr. Namyalo agamba nti, omuntu yenna olina okugenda ew’omusawo w’amannyo omukugu waakiri emirundi ebiri mu mwaka na kwekenneenya awamu n’okusenya ku makya n’olweggulo nga tonneebaka. Tokozesa kasenya kakaluba ate kakyuse buli luvannyuma lw’emyezi esatu. Bw’obeera osenya, teweerabira usenya ku lulimi ne waggulu ku kibuno.
Weewale okukozesa sabbuuni okusenya kubanga wa bulabe era akosa amannyo. Erinnyo bwe likuluma mu ngeri yonna, genda ew’omusawo omukugu akujjanjabe oba akwekebejje buli luvannyuma lwa myezi mukaaga.
Okwoza ku mannyo buli luvannyuma lwa myezi mukaaga n’owabulwa oba kyetaagisa oba tekyetaagisa. Omwana omuto muteere eddagala ettono ku kasenya ke ekirungo ekiri mu ddagala eryo kireme kukosa mannyo amalala
agandimeze nga galiko obutolobojjo obuddugavu. Dr. Namyalo agamba nti, ku mwana omuto, ng’alina ebinnyo mu kamwa mutwalire abakugu bamukebere era bakuyambe oba okukulung’amya nga bwe kyetaagisa