Amawulire

Amyuka ssentebe wa Disitulikiti ye Mityana akwatiddwa lwakuwa bba mulimu

AKAKIIKO akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwa Pulezidenti aka State House Anti-Corruption Unit kakutte omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti ye Mityana Annie Miriam Lugendo n’abakulira akakiiko akagaba emirimu aka District Service Commission.  

Ann Miriam Lugendo omumyuka wa ssentebe wa Disitulikiti ye Mityana eyakwatiddwa
By: Kizito Musoke, Journalists @New Vision
AKAKIIKO akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwa Pulezidenti aka State House Anti-Corruption Unit kakutte omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti ye Mityana Annie Miriam Lugendo n’abakulira akakiiko akagaba emirimu aka District Service Commission.
Omwogezi w’akakiiko Mariam Natasha yagambye nti baakutte abantu bana okuli; Lugendo, ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu Fred Lwasampijja, omuwandiisi w’akakiiko Hussein Mukiibi ne memba w’akakiiko Andrew Ssekibuule.
Ensonga ezaabakwasizza z’ekuusa ku kugabira emirimu abooluganda n’emikwano ne balekawo abalala abasinga obusobozi.
Kuno kwe bagatta n’okuggya ku bantu ssente nga babasuubizza okubawa emirimu egiba girangiddwa. 
Joseph Luzige ssntebe omulonde owa Disitulikiti ye Mityana

Joseph Luzige ssntebe omulonde owa Disitulikiti ye Mityana

Lugendo agambibwa okukozesa ekifo kye eky'omumyuka wa Ssentebe wa District n'afunira Sam Lugendo omulimu ogw'okukulira abalambuzi b'amasomero mu disitulikiti ye Mityana.
Natasha yagambye nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso era bye banaazuula bye bijja okusalawo kye bazzaako.
Okubakwata kuddiridde eyawangudde obwa ssentebe bwa disitulikiti ye Mityana, Joseph Luzige okuwandiikira Kaliisoliiso wa Gavumenti n’ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo ng’abasabbayimirize mbagirewo entegeka y’okuwandiika abakozi abapya aba disitulikiti okutuusa ng’amaze okunoonyereza ku mivuyo egyogerwako. 
Ebimu ku byalumiriza akakiiko y’enkola y’okuwa emirimu abooluganda n’emikwano gy’abakulembeze bannabyabufuzi n’abakozi ba Gavumenti ne bwe kiba nga waliwo abalala abasinga ebisaanyizo